Omusajja akubye mukazi we emiggo namutta

Poliisi y'e Kayunga ekutte Joseph Kizza agambibwa okukuba mukazi we namutta

 Joyce Poni eyattiddwa

OMUSAJJA yesuddemu jjulume n'akuba mukazi we emiggo n'amutta.

    Poliisi y'e Kayunga olubitegedde etandikiddewo omuyiggo okukakkana nga emukutte era n'emuggalira.

    Joseph Kizza asoose kugenda mu bbaale n'anywa omwenge n'akomawo n'atandika okukuba mukazi we Joyce Poni emiggo ppaka lw'amusse.

    Abafumbo bano basoose kuneneng'ana ekiro era omusajja obusungu yabuterese ppaka misana n'atta omukazi

    Akulira ba mbega ba poliisi e Kayunga Isaac Mugera yagambye nti Kizza bamugguddeko omusango gwa butemu era baakumutwala mu kooti avunaanibwe