Mutabaniwa Paasita akwatiddwamu bubbi

Mutabaniwa Paasita akwatiddwamu bubbi

 Paasita Ddamulira nga yeewozaako mu lukiiko.

ABATUUZE bakutte mutabani wa Paasita ne bamukwasa poliisi nga bamulumiriza okuba n'ekibinja ky'abamenyi b'amateeka ekiteega abantu mu Kawempe. Omwana ono (amannya gasirikiddwa) mutabani w'omusumba Ddamulira ow'ekkanisa y'abalokole esangibwa mu Kibe zooni ng'era gye basula.

Abatuuze baludde nga beemulugunya ku baana b'omusumba okwenyigira mu bumenyi bw'amateeka ng'abamu bazze bakwatibwa ku misango gy'obubbi ne bayimbulwa . Ku luno abatuuze nga bakulembeddwaamu Huudu Mugalasi mu zooni eno baamukutte nga baamusanze n'essimu ennene.

Baamukwasizza poliisi y'oku Kaleerwe eyamugguddeko omusango gw'okusangibwa n'ekibbe ku fayiro nnamba SD REF: 35/15/06/2019. Juma Lukeberwa omumyuka wa ssentebe wa Kibe zooni yategeezezza nti abaana b'omusumba ono bamanyiddwa mu bumenyi bw'amateeka mu kitundu kyabwe era basabye nnyaabwe emirundi egiwera abuulirire abaana be ne kigaana.

"Musumba takkiriza nti abaana be beenyigira mu bumenyi bw'amateeka naye abatuuze ku luno bamalirivu okugenda mu kkooti okulumiriza mutabani we kuba kirabika alemereddwa okumubuulirira" Lukeberwa bwe yategeezezza.

OMUSUMBA AYOGEDDE Omusumba Abdu Ddamulira yategeezezza Bukedde ku ssimu nti yabadde takimanyiiko nti mutabani we baamukutte. Yalumirizza akakiiko ka LC akapya nti kabba