Balaze obulippo Ssebuufu bw'ayolekedde mu kujulira

BANNAMATEEKA balaze obulippo omusuubuzi, Muhammad Ssebuufu owa Pine bw’ayolekedde mu kujulira bw’anaaba amaze okuweebwa ekibonerezo ky’okutta omuntu ku Mmande.

 Ssebuufu

Bya KIZITO MUSOKE
 
BANNAMATEEKA balaze obulippo omusuubuzi, Muhammad Ssebuufu owa Pine bw'ayolekedde mu kujulira bw'anaaba amaze okuweebwa ekibonerezo ky'okutta omuntu ku Mmande.
 
Kiddiridde omulamuzi Flavia Anglin Ssenoga okumusingisa omusango gw'okutta Donah Katusabe ng'ali ne banne abalala musanvu.
 
Munnamateeka Erias Luyimbaazi Nalukoola yategeezezza nti mu mateeka omuntu yenna okusingibwa omusango gwa nnaggomola ng'ogwa Ssebuufu walina okubeerawo
ebintu ebikulu bina.
 
Ekisooka walina okubeerawo obukakafu nti omugenzi yattibwa era nga kino kirina kukakasibwa n'ebbaluwa z'abasawo abateekeddwa okwekebejja omulambo.
 
Omufu alina okuba nga yattibwa mu bumenyi bw'amateeka. Waliwo omuntu lw'ayinza okuttibwa mu mateeka okugeza singa kkooti ebeera nga y'ewadde ekiragiro.
 
Omuntu eyatta alina okuba nga yakikola mu bugenderevu nga yayagala okuggyawo obulamu bw'omulala.
 
Omulamuzi alina okufuna obujulizi n'atasigalamu kakunkuna nti ddala avunaanwa ye yatta era nga mu njogera ennyangu oyinza okugamba nga kirabibwa n'ayonka.
 
 atusabe Katusabe

 

Obujulizi obuzze buweebwa mu kkooti naddala obwa munnamateeka Peter Tumusiime bwe yawa mu kkooti yategeezezza nti mukama we Annet Kobusingye yamusindika
agende ku Pine azuule oba nga ddala Donah Katusabe yali awambiddwa era ng'ali mu kutulugunyizibwa.
 
Bwe yatuuka ku kizimbe kya Amamu House ekiriraanye ekibanda kya Pine n'akuba ku ssimu y'omugenzi. "Bwe yagikwata yakkiriza nti yali akyali mu mikono gy'abantu abaali bamuwambye". Yasalawo okukkirira ku kibanda ky'emmotoka we yasanga abantu abawerako nga bakungaanye n'ababuuza Katusabe gye yali.
 
Alumiriza nti Ssebuufu yennyini yamukulemberamu n'amutwala mu kasenge mwe yasanga Katusabe ng'ali mu bigere nga yenna
awulubadde omubiri era ng'alabika talina maanyi.
 
Katusabe yamutegeeza nti yali awambiddwa okuva mu maka ge e Bwebajja ku lw'e Ntebe. Kyokka aba akyamunnyonnyola, Ssebuufu n'atandika okumusamba mu mabeere era oluvannyuma n'alagira abasajja abalala okumusamba.
 
Omulamuzi Ssenoga yategeeza ku Mmande nti singa Ssebuufu ne banne tebaalina kigendererwa kya kutta Katusabe bandibadde basobola okumuggulako omusango gw'engassi mu kkooti.
 
Eno y'ensonga lwaki tebaatawaana wadde okumutwala ku poliisi, ne
bamutuusiza ku pine. Kyokka Ssebuufu mu bujulizi bwe yawa kkooti yategeeza nti mu kiseera ettemu we lyabeererawo yali mu kkooti e Mengo ng'aliko emisango gy'ettaka gy'attunka nagyo.
 
Kyokka emirongooti gy'essimu giraga nti yali mu bitundu by'e Nakasero era ewali ekibanda kya pine.
 
EKY'OBUTABEERAWO NG'OMUNTU TEKITAASA SSEBUUFU
Okusinziira ku misango egimu egizze gisalwa omuntu obutabeera mu kifo we bakoledde ettemu tekitegeeza nti tazzizza musango kuba wasobola okubeerawo obujulizi obulala obumulumiriza nti yakolagana n'abatta.
 
Omulamuzi Mike Chibita bwe yali asingisa Godfrey Kato Kajubi omusango gw'okutta Joseph Kasirye mu January wa 2012 yasinziira ku bujulizi obwaleetebwa kkampuni ya MTN.
 
Obujulizi bwalaga nti mu kiseera ky'ettemu Kajubi yali ayogeraganya butereevu n'essimu y'omusawo w'ekinnansi, Umar Kateregga ne mukyala we abakkiriza nti ddala be baatemula omulenzi oluvannyuma omutwe n'ebitundu by'omubiri ne babikwasa Kajubi.
 
Joseph Kasirye 12, yattibwa nga October 27, 2008 nga yali asomera mu Kayugi Primary School e Mukungwe mu disitulikiti y'e Masaka.
 
Omulamuzi Moses Mukiibi yasooka kwejjeereza Kajubi nti talina musango, kyokka oluvannyuma Gavumenti yajulira era ne bamusingisa omusango.
 
Nga February 13, 2011 omulamuzi Lawrence Gidudu yasalira omusango Akbar Godi, eyali omubaka wa Arua munisipaali omusango gw'okutta mukazi we Rehema
Ceasar 18, eyakubwa amasasi nga December 4, 2008.
 
Mu kusooka Godi yali ategeezezza kkooti nti we battira Caesar yali mu maka ge ku lw'e Ntebe ate ng'ettemu lyali Mukono. Munnamateeka Macdusman Kabega yali
alumiriza nti omusibe teyasisinkanko na mugenzi.
 
Kyokka ebyava mu kkampuni z'amasimu eya MTN ne Warid byalaga nti mu kiseera ekyo Godi yali Bweyogerere ku luguudo olugenda e Mukono. Yasembayo
okukubira omugenzi essimu ku ssaawa 1:30 ez'akawungeezi ng'ebula essaawa ntono attibwe.
 
MUNNAMATEEKA WA SSEBUUFU ALAZE ENGERI GY'AGENDA OKUMUTAASA
 
Munnamateeka Evans Ochieng awolereza Ssebuufu akubye ebituli mu nsala y'omulamuzi Flavia Ssenoga n'ategeeza nti agenda kujulira obudde bwonna.
 
Ochieng akolera mu kkampuni ya Ochieng Associated Advocates and Solicitors yagambye nti ensala y'omulamuzi teyalambuludde ngeri Ssebuufu gye yeenyigira mu kutta Katusabe.
 
Ebimu ku bintu by'awakanya bwe bujulizi bw'essimu ezigambibwa nti zaakubirwanga Ssebuufu mu kiseera ekyo, ssente ezaali zimubanjibwa awamu n'ebigambibwa nti
omugenzi baamuggya ewuwe nga bamulimbye nti bagenda kuteesa.
 
Obujulizi obwo bwonna akimanyi nti tebulina ngeri gye bulumika musibe butereevu. Yeemulugunyizza n'agamba nti yandibadde yamaze dda okuteekateeka fayiro ejulira
naye ekikyamusibye kwe kubeera nga teyafunye nsala ya mulamuzi mu bujjuvu.
 
"Omulamuzi yasuubizza okutuwa ensala mu buwandiike ng'olunaku lwa July 1, 2019 kwasuubira okuweera ekibonerezo nga terunnaba kutuuka. Kyokka kye nkakasa tugenda kujulira kuba omuntu waffe tazzanga musango," Ochieng bwe yagambye.
 
Obumu ku bujulizi bwasuubira okwesigamako okujulira kwe kubeera ng'olunaku olwo okwawambirwa Katusabe, Ssebuufu yasiiba mu kkooti e Mengo gye yalina
omusango gw'ettaka era waliwo obujulizi obukikakasa.
 
Ne ku bigambibwa nti omugenzi yawambibwa, bannamateeka ba Ssebuufu balumiriza nti omugenzi ye yeesabira okumutwala ku Pine bategeeragane mu kifo kya poliisi ya
CPS gye baali bamulaza.
 
Ekirala ekikakasa nti Sebuufu bamulanga bwemage kwe kubeera nga ye yatwala obuvunaanyizibwa n'akubira omuduumizi wa CPS, Aaron Baguma essimu n'amuyita ataase embeera. Alumiriza nti Ssebuufu we yatuukira ku Pine ku ssaawa 12 ezaakawungeezi yasanga Katusabe mulamu.
 
Mu kusooka Ssebuufu yali awakanya n'okuwozesebwa ku musango gw'okutulugunya omuntu ekyamuviirako okufa , kyokka mu nsala y'omulamuzi Ssenoga gye yawa mu October w'omwaka oguwedde yasalawo nti alina omusango gw'alina okwennyonnyolako.
 
Ssebuufu yasooka kuvunaanibwa ne Baguma kyokka oluvannyuma ofiisi y'omuwaabi wa Gavumenti yaggyako Baguma omusango nga tewali nsonga eweereddwa.
 
Obujulizi obwaleetebwa mu kkooti, bulaga nti omugenzi yagula emmotoka
ku Ssebuufu ku bukadde 13, kyokka n'asigala ng'amubanja obukadde mwenda.