Lipoota ya Twaweza eyanise obunafu obuli mu malwaliro ga Gavumenti

Lipoota ya Twaweza eyanise obunafu obuli mu malwaliro ga Gavumenti

Aggrey Ssanya ssaabawandiisi w'ekibiina kya Twaweza Uganda ng'annyonnyola

OKUNOONYEREZA okupya ku by'obulamu n'obujjanjabi kuzudde nti omuwendo gw'abantu abagenda mu malwaliro okufuna obujjanjabi gweyongedde.

Wabula ne wankubadde omuwendo gweyongedde, bakizudde nti mu malwaliro naddala aga gavumenti abalwadde balwisibwa nnyo mu nnyiriri nga tebannaba kulaba basawo kufuna bujjanjabi bwe betaaga.

Bino bifulumiziddwa mu lipooti evudde mu kunoonyereza okukoleddwa aba Twaweza Uganda ne bakizuula nti ekitundu ku bannanyuga bonna bagenda mu malwaliro nga bafunye obuzibu era babiri ku balwadde basatu abagenda mu ddwaliro batwala essaawa numba mu nnyiriri.

Abantu bangi abafunye obubenje ku nguudo ng'obusinga obungi buva ku pikipiki (bodaboda) era wano Polly Namaye amyuka omwogezi wa poliisi mu ggwanga wategeerezza nti obubenje obusinga buva ku bulagajjavu n'abamu okuvuga nga tebalina bisaanyizo.

 olly amaya omumyuka womwogezi wa oliisi mu ggwanga ngannyonnyola Polly Namaye omumyuka w'omwogezi wa Poliisi mu ggwanga ng'annyonnyola

Marie Nanyanzi okuva mu Twaweza Uganda ayanjudde lipooti n'okugitematema n'ategeeza nti okunoonyereza bakukoze nga beesigama ku muwendo gw'abantu omutongole ogwafulumizibwa gavumenti mu 2014.

Okunoonyereza kwongedde okulaga nti omulwadde omu ku balwadde basatu abagenda mu malwaliro ga gavumenti bamuwandiikira ddagala ne bamulagira okulyegulira kubanga teribeerayo.

Wano Aggrey Ssanya omuwandiisi w'ekibiina ekigatta abasawo wakwatidde omuzindaalo n'ategeeza nti nga bwe bazudde nti omuwendo gw'abalwadde abeeyunira amalwaliro gweyongedde, ne gavumenti esaana eyongere ku nsimbi z'eteeka mu malwaliro.

Ategeezezza nti obuzibu bwe basanga mu malwaliro ga gavumenti agawansi osanga abasawo nga tebamala kyokka bwe batuukirira abakulira abakozi ku disitulikti (CAO) nga babasaba okubongera ku muwendo gw'abasawo babategeeza kimu nti tewali nsimbi.

Okubeera nga mu malwaliro tewaliyo ddagala limala ategeezezza nti ebiseera ebyayita minisitule y'ebyensimbi yawanga disitulikiti omutemwa gw'ensimbi n'egula eddagala okusinziira ku bwetaavu obuliwo wabula kati eddagala lyonna balina kuliggya mu National Medical Stores ate ng'eribawa mu kiseera ekigere.

Kale ne bwe liggwawo babeera balina okulinda ekiseera ekyo kituuke basobole okufuna eddagala eddala.