Gav't ereese etteeka eriwera okutunda n'okugula mmotoka enkadde

GAVUMENTI ereese etteeka erigenda okuwera okuleeta muno emmottoka enkadde.

Mu tteeka lino erikyali mu bubage eryanjuddwa minisita w'ebyentambula, Monica Ntege Azuba emmottoka zonna ezisussa  emyaka omunaana bukyanga zikolebwa tezigenda kuKkirizibwa kulEetebwa mu Uganda.

Ebbago lino lireteddwa kulongoosa mu tteeka ly'ebidduka n'obutebenkevu bw'oku nguudo erya ‘ Traffick and Road  Safety Act , eryayisibwa mu 1998.

Eyabadde akubiriza palamenti  omumyuka wa sipiika Jacob Oulanyah yalisindise mu kakiiko ka palamenti ak'ebyentambula kongere okulyekenenya.

Ku nsonga endala mu lutuula luno  omubaka Odonga Otto (Aruu North)  yasabye gavumenti ennyonnyole mu butongole emitendera egirina okuyitibwamu omuntu asudde ‘'endaga muntu'' okuddamu okufuna empya ne wa gy'ayinza okugisaba.

Wabula Minisita w'ensonga z'omunda Obiga Kania yagambye nti kituufu abantu abasuula ‘endaga muntu'  basanga obuzibu okuddamu okufuna empya.

Yagambye nti agenda  kujja n'ekiwandiiko ekinnyonnyola akawonvu n'akagga ku bikwata ku kuwandiisa abantu n'endaga muntu.

N'agamba nti n'ekitongole ekivunaanyizibwa kuwandiisa abantu ekya NIRA tekiwandiisa balonzi wabula Bannayuganda bonna.