Ab'ekibiina kya FDC basanyukidde ab'ekisinde kya People Power okulonda abantu baabwe

AB’EKIBIINA kya FDC basanyukidde ab’ekisinde kya People Power ekikulemberwa omubaka wa Kyadondo eyobuvanjuba Hon.Robert Kyagulanyi okulonda abamu ku babaka b’ekibiina kyabwe.

 Kikonyogo ng'annyonnyola

AB'EKIBIINA kya FDC basanyukidde  ab'ekisinde kya People Power

 

ekikulemberwa omubaka wa  Kyadondo ey'obuvanjuba, Robert Kyagulanyi okulonda abamu ku babaka b'ekibiina kyabwe okukolagana naye m unteekateeka y'okununula eggwanga gye baliko.

Bino byayogeddwa omumyuka w'ekibiina kino, John Kikonyogo mu lukungaana lw'abannamawulire olwatudde ku kitebe ky'ekibiina kyabwe n'agamba nti mu nteekateeka gye baliko ey'okununula eggwanga, buli omu bamwetaaga okulaba nga bagatta amaanyi okusobola okutuuka ku kigendererwa kyabwe.

Kikonyogo yagambye nti kye baakoze tebakirinaako buzibu kasika kibanga bali ku mulamwa gwa kununula ggwanga.

Kikonyogo waayogeredde bino ng' abeekibiina kya DP bafulumizza ekiwandiiko ekivumirira ebyakoleddwa ab'ekisinde kya People Power ne bawera n'okutuuza ababaka baabwe abalondeddwa okubabuuza akana n'akataano.

Mu kiwandiiko kino ekyateereddwaako omukono gwa Pulezidenti w'ekibiina kino, Nobert Mao yagambye nti tebajja kukkiriza bantu balala kusima musingi  mu luggya lwabwe.

Wabula ye Kikonyogo yagambye nti embeera Bannayuganda gye balimu yeetaaga buli muntu okukolagana ne munne okusobola okubavvuunusa ekizibu kye balimu.