Batuze omusuubuzi ne bamubbako obukadde 30

Batuze omusuubuzi ne bamubbako obukadde 30

ABATEMU balondodde omusuubuzi w'entangawuuzi Asadu Ssenyonga 33, ow'e Ggwaatiro mu ggombolola y'e Budde e Butambala ne bamutuga ne bamutta omulambo ne bagusuula ku kkubo e Nsimbe ku lw'e Masaka ne bakuuliita n'obukadde 30. Kigambibwa ssente zino yabadde azeewoze mu bbanka.

Mmotoka y'abatemu yabaddemu abasajja babiri n'omukazi eyabadde avuga. Ssenyonga baamusanze Kammengo ku lw'e Masaka ng'alinda takisi ne bamusaba bamutwaleko. Olwatudde mu mmotoka okwolekera Kampala ne bamuwamba ne bamutuga omulambo ne bagukyamya mu kasiko e Nsimbe mu bimuli ne bagusuula awo nga bamaze okumunyagulula ssente.

Abooluganda lwa Ssenyonga baategeezezza nti waliwo abaasoose okumukubira essimu kwe kwambala mu bwangu ng'apapa kyokka yali yakatuuka ku kkubo mmotoka eno kwe kujja ng'eyagala basaabaze abagenda e Kampala n'agirinnya kwe kumuwamba ne bamunyagako ssente ze yabadde yaakatuda mu ntangawuuzi ze obukadde 20 n'obukadde 10 ze yabadde yakeewola mu banka.

Abatuuze b'e Nakirebe be baalabye abasajja babiri nga balina ekintu kye basitudde ne bakisuula ebbali w'oluguudo ne beeyongerayo era baagenze oku-tuukawo nga waliwo mulambo gwa Ssenyonga ng'aliko ne ndagamuntu ye ne ssimu ne bayita poliisi y'e Mpigi. Poliisi y'e Nakirebe ng'ekulembeddwamu OC Joshua Rugwiza yaggyewo omulambo gw'omugenzi ne gutwalibwa mu ddwaaliro e Gombe okwekebejjebwa abasawo ne bakizuula ng'omugenzi yatugiddwa ne bamunyoola ensingo.

Ssentebe w'ekyalo kya Ggwatiro, David Mukasa yategeezezza nti wandiba nga waabaddewo ekobbaane n'abamu ku basuubuzi baabadde akolagana nabo abaamupangidde abatemu bano.

Omwogezi wa poliisi mu Katonga, Phillip Mukasa yagambye nti okunoonyereza ku bazigu bano kutandise n'alabula abantu okukomya okulinnya mmotoka za buyonjo okwewala obutemu buno n'okukomya okutambula ne ssente ennyingi.