Aganaga agobye Fresh Daddy

Aganaga agobye Fresh Daddy

ENNAKU eri ku Paul Mutabaazi eyeeyita Fresh Daddy ng'ono ye taata wa Fresh Kid emuyonka butaaba.

Maneja we, Khalifah Aganaga amugobye. Bino we bijjidde nga yaakakubwa obucupa bwe yabadde ayimba mu kivvulu ekimu ku Aero Beach e Ntebe.

Abadigize baabadde bamulanga kubamalira biseera nga bagamba nti by'ayimba tebirina mulamwa ate tava ku siteegi bbo kye baayise okubalemerako.

Obwedda bamukuba bw'abagamba nti baamusasudde kubayimbira tebajja kumutiisatiisa. Aganagana yagambye nti ebya Fresh Dady abivuddemu n'ayingizaawo Chris Johns okuva e Luweero.

Bangi bajjukizza Aganaga ebintu MC Kats bye yalangira Fresh Dad nga bw'atali muyimbi nga Aganaga abamusibako abalala ne bagattako nti yamaze kumulyamu ssente kati amusuula. Bano babadde bakola ng'ekivvulu bamuwa 500,000