Leero mu mboozi y'omukenkufu tukuleetedde BORAX Eddagala erigoba kiwotoka ne kandida

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukuleetedde BORAX Eddagala erigoba kiwotoka ne kandida

 Borax akolebwa ku Prof Bioresearch

TUZZE twogera ku minnyo n'enjazi ez'enjawulo okugeza olwazi oluvaamu omunnyo gwa Diatomite olusangibwa e Pakwach, omunnyo gwa Himalayan, ogwa Epsom n'emirala nga giyamba abantu n'ebirime.

Leero ka twogere ku munnyo ogwa ‘Borax' nga guno gukola ku bantu n'ebirime. Ekimu ku bisinga okutawaanya abantu ye kiwotoka akwata ebirime eby'enjawulo okuli: ennyaanya, ebitooke, emmwaanyi, entula, kaamulali, obutunda n'ebirala.

Borax atta ebiwuka ebirabika n'ebitalabika ate mwattu nga talina bulabe eri abantu wadde obutonde bw'ensi ekijja okukuyamba Bannayuganda okutunda ku katale k'ensi yonna abagula ebintu ebitaliimu ddagala lya butwa.

Omunnyo guno gulimu ekirungo kya ‘Boron' ekiyamba okutta obuwuka obuleeta kiwotokwa n'okugoba ekikome.

Omunnyo guno guyamba okwongera amaanyi mu kirime ne kisobola okuwunya obuwoowo obugoba obuwuka ssinga oba ofuuuyidde ekijiiko kimu mu liita 20 ez'amazzi. Fuuyira buli luvannyuma lwa wiiki.

Atta obusirihhanyi obulya ebitooke ‘Nematodes' ssingaomufuuyira mu bitooke.

Takoma ku birime, enkoko n'ente bisumbuyibwa ebiwuka ezibiremesa okugejja obulungi. Mu mbeera eno oteeka ekijiiko kya Borax mu liita 20 ez'amazzi n'owa enkoko zo.

Ayamba amasannyalaze okugaggya mu nte, ssinga oziwa ekijiiko kimu mu liita 20 n'eremwa okukola obutwa mu nnyingo obuyinza okuzireetera okulemala.

Borax akola ku bantu l Alwanyisa akawuka aka ‘Propioni bacterium' akaleeta embalabe bw'akatta olwo olususu nga lutereera. Ekijiiko kimu okitabula mu liita y'amazzi agabuguma n'onaaba mu maaso. Naawe amyuka amaaso kola kye kimu.

Ensaano ya Borax bw'ogigatta mu butto w'ennazi ne weesiiga mu mpataanya z'ebigere akuvumula kabootongo.

Ebigere ebiriko oluwere oba obulwadde obulala, naawe asobola okukuyamba. l Ku bakyala avumula endwadde ya kandida ne yinfekisoni ze batera okufunira mu binaabiro naye basobola okumukozesa okweyonja mu bitundu by'ekyama.

Kyokka n'abalina kaabuyonjo naddala zino ez'amazzi osobola okumuteekamu n'atta obuwuka.

Ayamba okuggya ekisu mu ngoye, ky'ova olaba abamu bamanyi okumuteeka mu sabbuuni lwakuba owaabwe taba wa butonde abeera mukolerere.

Mukozese ne mu kukuuba ebintu tajja kuba na bulabe bwonna nga bw'olaba ku bintu ebirala eby'obuwaya bye boozesa ebintu oba essefuliya.

Atta obuwuka obuleeta oluwumu n'olususu okukusiiwa ate n'okutta obuwuka obukusiiwa. N'abantu abasiiyibwa amazzi oba sabbuuni okubabutula n'okubayubula engalo ajja kukuyamba.

Borax ssinga omuteeka mu mazzi akuyamba okugonza sabbuuni n'obeera ng'okozesa sabbuuni mutono ng'oyoza.

Atta ebiwuka mu maka okugeza ebiyenje n'ebirala. Era mu kumugula olina okusooka okukakasa nti, gw'oguze wa butonde so si mukolerere kubanga emigaso gye twogeddeko waggulu atali wa butonde tajja kugikola.

Julius Nyanzi owa Prof Bioresearch asangibwa ku Equatorial Mall edduuka nnamba 152 mu Kampala. Mufune ku 0702061652 / 0779519652