Teddy Bugingo yeeyongeddeyo mu Kkooti Enkulu

Teddy Bugingo yeeyongeddeyo mu Kkooti Enkulu

 Teddy Bugingo ne looya we Julius Galisonga mu kkooti.

TEDDY Naluswa Bugingo addukidde mu Kkooti Enkulu ng'awakanya eky'Omulamuzi wa kkooti y'e Kajjansi, Mary Babirye okulemera mu musango bba Bugingo gwe yateekayo. Eggulo Omulamuzi Babirye yawadde ensala ye ku musango Bugingo gwe yateekayo ogw'okwawukana ne Teddy awase omukyala omulala gw'ayagala mu mutima.

Kkooti eyatudde eggulo, Bugingo teyalabiseeko era looya we Ronald Ruhinda ye yamukiikiridde. Omusango guno guli mu kkooti ento e Kajjansi era Teddy yali yasaba Omulamuzi Mary Babirye agugobe nga taguwulidde kubanga gulimu eby'obugagga ebisoba mu buwumbi obubiri ate mu mateeka kkooti ento ekoma ku misango gitasussa bukadde 50.

Omulamuzi Babirye yagambye nti ensonga eri mu ddiiro ya kuwulira nsonga y'okugattululwa wabula ensonga y'okutunuulira ebyobugagga byabwe bye bakoze ejja kujja mu maaso ng'obujulizi obumatiza bumaze okuleetebwa.

Wabula bwe kituuka ku by'okugabana eby'obugagga ebitemera mu buwumbi 2 yagambye nti ensonga eno asobola okugisindiika mu kkooti emusingako ne basalirawo buli omu ky'alina okutwala singa anaabeera abagattuludde.

Ensala y'Omulamuzi, Teddy ne balooya be okwabadde Julius Galisonga ne Edward Kayemba yayongedde kubatabula era Galisonga yagambye nti ensonga bagenda kuzongerayo mu kkooti ejulirwamu y'eba ebasalirawo kubanga tebajja kukkiriza mulamuzi Babirye kuwulira musango gwa kugattulula Teddy ne Bujjingo ate bwe kituuka ku kyokugabana ebyobugagga Omulamuzi omulala asalewo.

Teddy agamba nti obujulizi bwonna Omulamuzi bw'anaakuhhaanya ku by'obugagga byabwe nga tannaba kuddamu kuwulira musango guno bujja kweraga mu lwatu nti omusango talina kugubaamu kuba ebyobugagga bino bisukka mu buwumbi 2.Baawakanyizza ensala y'Omulamuzi ne bategeeza nti bagenda kujulira essaawa yonna okulaba ng'Omulamuzi Babirye ensonga zonna azivaamu ziteekebwe mu kkooti entuufu erina okuwulira omusango guno.

Paasita Aloysius Bugingo owa House of Prayer International Ministries e Makerere- Kikono yaddukira mu kkooti e Kajjansi ng'agisaba emugattulule ne mukyala we Teddy Naluswa Bugingo gw'amaze naye emyaka 29 mu bufumbo