Bamukwatidde mu bufere ku facebook

Bamukwatidde mu bufere ku facebook

OMUSAJJA eyeeyita omuduumizi w'eggye ly'eggwanga bamulumirizza okukozesa ‘facebook' n'aggya ssente ku bantu ng'abasuubiza okubaako byabakolera.

Stephen Oketayot ow'e Kitintale Zooni 12, yalumirizza Joel Otim ow'e Kireka okumusaba ssente oluvannyuma lw'okumutegeeza nti aliko ekifaananyi kye yamusiigira.

Oketayot yategezezza kkooti nti olunaku olumu yasiiga ekifananyi kya Muhoozi kye yali ayagala okumutonera era n'agezaako okwekwata abantu b'enjawulo be yalowooza nti bamutuukako bamuyambe okukimuwa kyokka baakoma ku kya kumusuubiza nga wanno we yasalirawo okunoonya engeri endala gy'asobola okumulaba