Omusajja wa Rema omupya aleseewo omukazi omulala

Bba wa Rema omupya gw’agenda okwanjula asoose kulekawo mukazi mulala gwe yazaalamu omwana.

Rema eyayawukanye ne Eddie Kenzo yafulumizza kaadi z'okwanjula kwe ne Dr. Hamzah Ssebunya okulibaawo nga November 14, 2019.

Kyokka kyategeezeddwa nti Ssebunya okutwala Rema yasoose kusuula muwala mulala gw'alinamu omwana.

Wabula ab'enkambi ya Rema bategeezezza nti Rema tabbye musajja wa munne kubanga Ssebunya yali yayawukana dda n'omuwala oyo. Era Rema bwe yali tannakkiriza kumwanjula Ssebunya yasooka kubakakasa bw'atalina mukazi mulala yenna.

Rema Namakula okufulumya kaadi z'okwanjula y'ebadde entikko y'okwawukana ne Kenzo gw'alinamu omwana omu.

Bukedde yayogedde ne Kenzo mu kiseera kino ali mu Amerika n'ategeeza: Nneewuunya abansalira omusango abeefudde nti bamanyi nnyo ensonga zaffe ne Rema.

Ebya Rema mbirekedde Katonda kubanga y'amanyi ekituufu ekiriwo wakati waffe ffembi.

Yabadde ayogera mu ngeri ya kukolima ne yeewuunya mikwano gya Rema abamulumba ku ttivvi ne ku yintaneeti kyokka nga basinziira ku bulimba tebamanyi kituufu.