'Uncle Money' bamugasse ku musango gw'obutemu n'aggalirwa

OMUWAGIZI w’omupiira lukulwe, Jackson Ssewanyana amanyiddwa ennyo nga Uncle Money ali mu kaduukulu ka poliisi ng’avunaanibwa gwa kutta muntu.

 Ssewannyana amanyiddwa nga Uncle Money.

Uncle Money mu kiseera kino akuumirwa mu kaduukulu ka poliisi ya Kampalamukadde, alumirizibwa okwenyigira mu ttemu omwafi ira Siraje Tumusiime eyali omutuuze w'e Lubya mu zooni 4, mu Munisipaali y'e Lubaga.

ENGERI TUMUSIIME GYE YAFAAMU

Mukomugenzi, Mariam Nanzara agamba nti olunaku lwe yasemba okulaba bba nga August 15, 2019, baali mu ddiiro nga balaba ttivvi, omuntu n'akubira bba essimu n'afuluma ebweru.

Kyokka ekiseera bwe kyayitawo nga bba tadda, kwe kukuba ku ssimuye kyokka nga tagikwata.

Obudde bwe bwakya, yatandika okutuuka mu bifo eby'enjawulo omwali n'ewa muggyawe ono n'amutegeeza nti bbaabwe tannamulabako.

Yeeyongerayo ku poliisi era eno gye yasanga omu ku batuuze abaamuwa amagezi okunoonya omusajja omu omukinjaaje y'amanyi ebikwata ku bba.

Yasisinkana omuntu ono gwebaamulagirira eyategeerekeka nga Bbiira n'amutegeeza nti yalaba abantu abaakwata bba nga kuliko Uncle Money n'omusajja omukuumi ku kyalo ayitibwa Ssennyonga.

Baamukuba era yamuwulira ng'abeegayirira okumuleka kyokka nga tebamuwuliriza.

Omugenzi yalaba Bbiira ng'abagoberera kwe kukwata mu nsawo n'aggyamu essimu ne ssente bye yalina n'abimukwasa abimuterekere, Uncle Money ne Ssennyonga ne beeyongerayo nga bawalaawala omugenzi kyokka nga tamanyi kye bamuvunaana. Uncle Money ye mumyuka wa ssentebe w'e Kasubi mu zooni 4.

Abatuuze abaabadde batasalikako musale baategeezezza nti ekikolwa ky'ettemu eryatuusibwa ku Tumusiime Uncle Money yakikola ali ne Ssennyonga omukuumi w'ekyalo.

Oluvannyuma Uncle Money ne Ssenyonga baalumba Bbiira ne bamuggyako ssente n'essimu omugenzi bye yali amuteresezza.

Nnamwandu bwe yakubira Uncle Money essimu okumubuuza ku bya bba, yamuwa amagezi bba amubuulize ku poliisi ye Namungoona.

OMULAMBO MU GGWANIKA

Nnamwandu agamba nti nga August 19, omuntu gw'atamanyi yamukubira essimu n'amutegeeza nti omulambo gwa bba guli mu ggwanika e Mulago, era bwe yatuukayo nga gyeguli.

Gwaliko ebiwundu ku mutwe ne mu maaso ne kumikono nga gulabia nga gwali gumaze ennaku eziwera mu ggwanika.

EBIRI MU SITETIMENTI YA UNCLE MONEY

Okusinziira ku sitetimenti Uncle Money gye yawa ku poliisi, yategeeza nti yali mu nnyumba ekiro kwe kuwulira oluyoogaano ebweru n'afuluma.

Yasanga ebbiina ly'abantu likkakkanye ku Tumusiime limukuba, kyokka bwe baamulaba (Uncle Money) ne badduka.

Agamba nti ku baakuba Tumusiime bonna talina gwe yeetegerezaako wabula yali akyanoonya eky'okukola, nga bali ne Ssennyonga, ne wavaayo mmotoka ey'ekika kya Subaru n'eyimirira era eyali agivuga ne yeeyanjula nti yali musirikale atwala poliisi y'e Najjeera .

Munda mu mmotoka mwalimu omuntu ali ku mpingu eyali alumiriza Tumusiime nti ebintu bye yabba gwe yabiguza. Wabula omu ku basirikale ba poliisi y'e Kampalamukadde ataayagadde kwatuukiriza mannya , yategeezezza nti sitetimenti ya Uncle Money tetegeerekeka era bakyagenda mu maaso n'okubuuliriza ku ttemu lino.

Poliisi yaguddewo fayiro y'omuango gw'obutemu ku fayiro nnamba muntu ku fayiro 1056/19.

Omwogezi wa Poliisi mu Kampala n'emiriraano, Patrick Onyango ku ky'okulwisa Uncle Money ku Poliisi nga tatwaliddwa mu kkooti, yagambye nti omusango gw'ettemu tegupapirwa.

Poliisi ebuuliriza bingi omuli okuzuula abaaliwo, omukwate gye yali mu biseera we byagwirawo n'ebirala nga Poliisi bw'eba erabye.