Ssaalongo alumbye mukazi we gye yanobera n'amwokya n'omusiguze

SSAALONGO ebbuba lyamutembye n’alumba omusajja eyasigula mukazi we bombi n’abayiira petulooli n’abookya okukkakkana nga Nnalongo afudde.

 Abalongo be baamulesezza Nnaalongo. Ku ddyo ye Mugalula.

SSAALONGO ebbuba lyamutembye
n'alumba omusajja eyasigula
mukazi we bombi n'abayiira petulooli
n'abookya okukkakkana nga
Nnalongo afudde.
Bino byabaddewo ekiro ekyakeesezza
ku Lwokuna lwa wiiki eno ku
ssaawa 8.30 mu zooni 11 e Kitintale
mu Munisipaali y'e Nakawa .
Ssaalongo William Mugalula 36
ne Nnalongo Harriet Namutebi
25, babadde bafumbo nga balina
abalongo abaweza emyaka esatu
egy'obukulu kyokka bazze bafuna
obutakkaanya mu maka okutuusa
Nnaalongo bwe yasalawo n'anoba
n'abaana be n'afumbirwa ewa Dan
Kyazze mu kitundu ekyo.
Ssaalongo yagezezzaako emirundi
mingi okumatiza Nnalongo adde
kyokka ne yeerema olw'empisa
embi eza bba era kigambibwa
nti aba famire ya Nnalongo
baali baamuwa dda amagezi okuva
ew'omusajja ono eyali yalabika
edda nti wa bulabe.
ENGERI SSAALONGO GYEYAKOZEEMU
ETTEMU LINO
Ssaalongo yasoose kuliimisa eyali
mukazi we n'amubbako abaana
baabwe abalongo n'abatwala.
Nnalongo bwe yakomyewo awaka
ng'abaana tabalaba, kwe kugenda
ewa bba n'amubuuza abaana kyokka
n'amuddamu nga bwe yabadde
tannalaba ku baana.
Wabula abamu ku b'omuliraano
gwa Nnaalongo baamutegeezezza
nti baalabye eyali bba ng'atwala
abaana emisana. Obudde bwe
bwazibye, Nnalongo ne bba
omupya Kyazze beggalidde mu
nnyumba. Obudde bwe bwagenderedde,
omuntu yaleese amafuta
n'agamansa mu nnyumba
ng'agayisa mu kamooli era olwamaze
n'asuulamu akati k'ekibiriiti
akaliko omuliro.
Ennyumba yonna yakutte omuliro
era Nnalongo ne bba omupya
gwabookezza nnyo. Abadduukirize
we baatuukidde, baasanze abantu
bano bombi bali mu mbeera mbi.
Baabaggyemu ne babatwala mu
ddwaaliro e Kiruddu kyokka
baabadde baakabatuusa, Nnalongo
n'afa. Kyazze ali bubi.
Omuyiggo gw'okunoonya
omutemu gwatandikiddewo era
baasookedde wa Ssalongo gwe
basaanze nga yeggalidde mu nnyumba
ye kyokka olwamubuuzizza
ku by'ettemu lino n'ategeeza nga
bwatalina ky'abimanyiko .
Poliisi yayazizza ennyumba ye
n'ezuula we yanaabidde amafuta
era gaabadde gawunya oluvannyuma
yakkirizza n'akwatibwa
n'atwalibwa ku poliisi.
Amyuka omwogezi wa Poliisi mu
Kampala n'emiriraano ASP Luke
Owoyesigyire, yakakasizza okukwatibwa
kwa Mugalula, n'ategeeza
nti baasoose kumukuumira ku
Poliisi e Kitintale kyokka oluvannyuma
ne bamwongerayo ku
Jinja Road, gy'akyakuumirwa nga
n'okunoonyereza bwe kugenda mu
maaso.
"Twamugguddeko emisango ebiri;
ogw'okwokya n'atuusa obulumi
ku bantu n'okukutta mukazi we, era
amangu ddala nga bambega baffe
bamalirizza okunoonyereza, fayiro
ye yaakutwalibwa ewoomuwaabi
wa gavumenti atwalibwe mu kooti"
Owoyesigyire, bwe yategeezezza.
SSAALONGO AZZE YEENYIGIRA MU
BIKOLOOBERO
Ssentebe w'ekyalo David
Wasiye, yategeezezza nti mu 2000
Mugalula yatema taata we John
Kabali ejjambiya ne bamusiba
emyaka ebiri mu kkomera e
Luzira.
Mu 2014 yagezaako okwokya
muliraanwa we era baamukwata
n'asindikibwa ku limanda mu
kkomera e Luzira gye yamala
omwaka gumu n'ekitundu oluvannyuma
n'asonyiyibwa.
Mu mwaka gwa 2016 yasalako
mutuuze munne Wabwire okutu
era bwe baamuwaabira ku LC
yabategeeza nga bweyali ayagala
okumubba kyokka bwe
baatuuka ku Poliisi baakizuula
nti tekyali kituufu ne bamukwata
n'asimbibwa mu kkooti e
Nakawa omusango ne gumusinga
era ne bakkiriziganya ne Wabwire
amuliyirire.
TAATA W'OMUGENZI AYOGEDDE:
Godfrey Mubiru, taata wa
Harriet Namutebi, yategeezezza
nti oluvannyuma lwa muwala
we okubalaajanira nti bba yali
asussizza okumukooza akajjiri,
batuukirira Poliisi y' e Kitintale ne
bagiroopera ensonga kyokka ne
batabayamba.
Muto wa Namutebi, Samalie
Nansubuga, yategeezezza nti yali
yawaako dda mukulu we amagezi
obutageza kwagala musajja ali
kumpi na maka ga musajja we
gwe yakyawa (Ssaalongo Mugalula)
wabula ne yeerema ,ng'awoza
kimu nti yali yamumatiza ne
bazadde be nti yali abeera wa
mukwano gwe omuwala kyoka
nga yafumbirwa Kyazze.
Namutebi eyalabiddwa
ng'abambuseeko olululu lwonna
nga tannafa yaziikiddwa mu
disitulikiti y'e Buikwe ku kyalo Luleeka
ekisangibwa e Ssi Bukunja.