'Abankwatirwa obuggya balinga akabwa akaboggolera enjovu'

Abankwatirwa obuggya balinga akabwa akaboggolera enjovu kuba bw’eba erina w’eraga nga waliwo akabwa mu maaso ne bwe kaboggola katya, enjovu esigala esonga busonzi mu maaso n’awunzika nti Bugingo alinga njovu mu kiseera kino mu kisaawe ky’okubuulira enjiri.

Nga tannalinnya ku katuuti waasooseewo abasumba okwabadde ne Simeon Kayiwa eyazze ne mukazi we Celia Kayiwa.

Kayiwa mu kubuulira yagambye nti kuno ku nsi obuggya bungi kumpi buli muntu akwatirwa munne obuggya.

"Nze ngenda kuweza emyaka 42 nga ndi mu njiri naye abantu bankwatiddwa obuggya wabula nsonyiwa era abo, Bugingo basonyiwe".

Yagambye nti abakwatirwa Bugingo obuggya balinga akabwa akaboggolera enjovu kuba bw'eba erina w'eraga nga waliwo akabwa mu maaso ne bwe kaboggola katya, enjovu esigala esonga busonzi mu maaso n'awunzika nti Bugingo alinga njovu mu kiseera kino mu kisaawe ky'okubuulira enjiri.

Bugingo nga tannalinnya katuuti yasoose kwetoloola kisaawe ng'awuubira abantu nga nabob we baanukula n'okuwuuba obutambaala obweru n'ebitabo bye baakazaako "Vision Book" mwe bawandiika ebiruubirirwa byabwe bye baagala Katonda abakolere.

Oluvannyuma Bugingo yagenze mu muddo gw'ekisaawe wakati n'agwa wansi ng'avuunise omutwe n'amala eddakiika nga ttaano ng'asa ate oluvannyuma ne yeevuunula n'atunula mu bbanga era n'agenda mu maaso n'okusaba.

Oluvannyuma yavuddewo n'afukamira era awo amaziga gaabadde gamuyitamu nga geetabise n'entuuyo, n'aggyayo akatambaala akeeru okwesangula mu maaso nga bw'ayongera okusaba.

Oluvannyuma yalinnye akatuuti n'asimbula enjiri ng'aduumira endwadde, obwavu n'ebizibu ebirala bive mu bulamu bw'abantu bafune obulamu obulungi.

Akatuuti yakalinnye ku ssaawa 6:15 ez'ekiro wakati mu nduulu eraga obuwagizi okuva mu bagoberezi be.

alt=''
 
alt=''
alt=''