Gwe baalongosa ensigo yeebazizza Bukedde

Brian Ndyamusimanta yagambye nti aba Bukedde olupapula ne ttivvi be baamuyamba okumanyisa Gen. Salim Saleh eyamutwala ewa pulezidenti n’amuwa ssente ez’okumujjanjaba.

 Brian  Ndyamusimanta gwe baalongosa enisgo

OMUVUBUKA  eyalina obulwadde bw'ensigo Pulezidenti n'amuwa obukadde 600 okugenda e China okumujjanjaba yeebazizza Bukedde.

Brian Ndyamusimanta yagambye nti aba Bukedde olupapula ne ttivvi be baamuyamba okumanyisa Gen. Salim Saleh eyamutwala ewa pulezidenti n'amuwa ssente ez'okumujjanjaba.

Yagambye nti Bukedde yonna agyebaaza olw'okubeera n'omutima omusaasizi ne bataasa obulamu bwe nga babuulira abantu embeera gye yalimu.