Eddy Kenzo eyayimba 'System Volongoto' asisinkanye Museveni

Eddy Kenzo eyayimba 'System Volongoto' asisinkanye Museveni

 Museveni (ku ddyo) ng'asisinkanye Kenzo.

Bya Musasi waffe

Museveni asisinkanye Kenzo mu maka g'Obwapulezidenti e Ntebe, n'asuubiza okumukwatirako mu myuziki we.



 Museveni ne Kenzo nga bakutte awaadi, Kenzo zazze awangula.

Museveni era yeebazizza Kenzo olw'enkulaakulana gyatadde ku ggwanga lye n'olwokutunda Uganda mu nsi yonna ng'ayita mu kuyimba.

Kenzo mu kugenda e Ntebbe yagenze ne Award zonna zazze afuna n'azanjulira Museveni. 

Omuyimbi Eddy Kenzo akawungeezi ka leero akyaddeko mu maka g'obwa Pulezidenti e Ntebe gyanyumirizaamu Museveni olugendo lwe olw'omuziki. Amutegeezezza ng'omuziki bwe yagujja mu Ghetto nga mulekwa natuuka okufuuka omuyimbi awangula awaadi z'ensi yonna. 

 
"Olugendo lwa Kenzo lulaga ewala Bannayuganda gye bayinza okutuuka singa bakozesa talanta zaabwe mu bujjuvu nga bakozesa emirembe n'ebyo gavumenti byetaddewo" Museveni bwe yategeezezza.

 useveni ngasiima enzo olwokutunda eggwanga ebweru Museveni ng'asiima Kenzo olw'okutunda eggwanga ebweru.

Museveni agambye nti ne bwataba myuziki, wabula ne mu byobulimi, ebyempeereza, tekiniologiya n'ebirala byonna omuntu asobola okubiyitamu n'ayitimuka mu nsi eno.

 
Pulezidenti yasiimye Kenzo olw'okuzza ssente ze mu ggwanga n'okutondawo emikisa emirala eri abavubuka abalina ebitone.
 
Yategeezezza nti gavumenti yakusiima abayimbi ne bannabitone ng'abannabyamizannyo abatunze eggwanga lyabwe. Emabegako tusobodde okussa ebyuma mu sityudiyo z'abayimbi ez'enjawulo okuyamba abavubuka abalina ekitone ky'okuyimba basobole okuokwata ennyimba zaabwe era Pulezidenti abayambye n'okukwata ennyimba zaabwe ku butambi.
 

EBIRALA KU KENZO

 

Image

Image

Abadigize e Mukono bayiiridde Eddy Kenzo baketi y'omusulo ku siteegi ng'ajaganya amazaalibwa ge: Abaggunze agakonde

Abadigize e Mukono bayiiridde Eddy Kenzo baketi y'omusulo ku siteegi ng'ajaganya amazaalibwa ge: Abaggunze agakonde

Omuyimbi Eddy Kenzo ne Anita Fabiola oba babala ka ki!!...

Kenzo afulumizza oluyimba ku maamawe eyamulangirwa Sheikh Muzaata

Kenzo afulumizza oluyimba ku maamawe eyamulangirwa Sheikh Muzaata

EBIRALA........
Fr. Lokodo ayise Muzaata ku by'okujolonga Kenzo