Bukedde agabidde ab'e Nyenga Boys Primary School ebikozesebwa mu bigezo

BUKEDDE mu nteekateeka ey’okuyamba okutumbula ebyenjigiriza mu ggwanga edduukiridde abayizi ba Nyenga Boys Primary School n’ebikozesebwa ebinaabayisa mu kiseera ky’ebigezo bya PLE ebitandise leero.

 Abayizi ba Nyenga Boys nga balaga ebibaweereddwa

Bya Mukasa Kivumbi   
 
 
BUKEDDE mu nteekateeka ey'okuyamba okutumbula ebyenjigiriza mu ggwanga edduukiridde abayizi ba Nyenga Boys Primary School n'ebikozesebwa ebinaabayisa mu kiseera ky'ebigezo bya PLE ebitandise leero.
Abayizi baaweereddwa ebikozesebwa nga ppeeni, ekkalaamu, sseeti, ffuuti empanvu, sooda abawala ne bafuna ne paadi.
Miriam nambatya, omukozi wa Bukedde olupapula oluvannyuma lwokubakwasa ebikozesebwa yagenze mu maaso n'abakubiriza okubeera abeegendereza nga bakola ebigezo n'okugoberera amateeka aganaabaweebwa.
Yasabye abayizi obutatya bibuuzo ebyo kuba bijja kuba bifaanagana ebyo bye bazze bakola. Yagenze mu maaso n'okubajjukiza okukwata obudde. Bakeere okujja ku ssomero ku nnaku z'okukola ebigezo.
 
 austa amukwaya Fausta Namukwaya

 

Yabalabudde okwewala abantu abayinza okubabuzaabuza mu kiseera kino kuba kijja kubakosa nga bakola ebigezo.
Omukulu w'essomero lya Nyenga Boys, Fausta Namukwaya asiimye  Bukedde okuvaayo okudduukirira abaana nti kuba bangi  babadde tebayimiridde bulungi nga eby'okukozesa tebalina. Wabaddewo abalina naye nga tebiri mu mbeera nnungi ate nga kizibu okusanga alina byonna. Yeebazizza Bukedde okubawanga akatabo ka PASS PLE akafulumira mu mawulire okuva omwaka we gwatandika. Yagambye kano kabayambye nnyo okwejjukanya ebizze bibasomesebwa. 
Omusomesa, Ambrose  Obel yeebazizza Bukedde ne Vision Group  okuvaayo ne babayambira abaana n'abasaba bongere okubayamba kuba obwetaavu bukyali bwamaanyi ng'abazadde abasinga tebalina busobozi. Yagambye nti, bazze beeyambisa akatabo ka PASS PLE era amanyi kayambye kinene abayizi abagenda okutuula ebigezo bya P7.
 
 omusomesa wa yenga oys mbrose bel ngasiima ukedde omusomesa wa Nyenga Boys, Ambrose Obel ng'asiima Bukedde

 

 Omuyizi Aisha Ndagire  ku lwabayizi yeebazizza Bukedde obuyambi obwenjawulo bw'ezze ebawa era n'agamba nti bujja kukola kinene ku binaaba bivudde mu bigezo bya PLE.