Aba NRM mu Kampala ssi basanyufu lwa Museveni kutiitiibya Kusasira ne banne

ABAMU ku bakulembeze ba NRM mu Kampala ssi basanyufu olwa Pulezidenti Museveni okulekawo bammemba b’ekibiina abagundiivu n’alonda abayimbi nga Catherine Kusasira ne Mark Bugembe amanyiddwa nga Buchaman okumukolera emirimu.

 Pulezidenti Museveni ne Kusasira

Kirowoozebwa nti Pulezidenti Museveni okutandika okusembeza abayimbi kugendereddwaamu kwongera kusensera bantu b'omu Kampala naddala aba ‘Ghetto' Bobi Wine   ategeka okuvuganya gy'abadde afung'amye.

Ng'ali e Katwe wiiki ewedde, Pulezidenti yalonze Kusasira okuba omuwabuzi we ku nsonga za Kampala era n'alonda eyali musajja wa Bobi Wine amanyiddwa nga Buchaman okumuwabula ku nsonga za Ghetto.

Okuva ku abo Pulezidenti yasisinkanye  Ediriisa Musuuza amanyiddwa nga  Eddy Kenzo ne  Jennifer Nakanguubi ayitibwa  Full Figure.

Ssabavvulu Balam yagambye nti Pulezidenti anoonya abanaakunga abantu mu kulonda okuddako mu Kampala kuba ab'oludda oluvuganya babadde bamwefuze nnyo.

Wabula ssentebe wa NRM mu Kampala Salim Uhuru yagambye nti ssi musanyufu olw'okuba Pulezidenti alonda abatali bammemba ku kakiiko ke.

‘'Kino kiba ng'ekitegeeza nti abakulembeze ba NRM mu Kampala okuli ne baminisita tebakola. Naye Pulezidenti atusuubira atya okukola ng'emisingi gy'ekibiina tegiweereddwa busobozi bumala kukola.

Ndowooza kikyamu okulonda Kusasira ng'ate Kampala alimu abantu abagundiivu abategeera eby'obufuzi'' bwe yabuuzizza.

Omumyuka we Godfrey Nyakana yanenyezza abantu abamu ababuzabuza Pulezidenti ng'ekigendererwa kyabwe ‘'kwekusa''.

Bwe yabuuziddwa oba Kusasira ne banne banakola, Nykakaana yagambye nti buli omu asobola okukola kasita ng'awreddwa ebikozesebwa ng'ate mumanyifu