Ababbiddwa ku by'ekyeyo ky'e Buwalabu balaajana

BANNAYUGANDA gye bakomye okunoonya emirimu n’abagagga bannannyini kkampuni agatwala abantu ebweru gye bakomye okubaggyako ssente mu ngeri y’olukujjukujju. Banannyini makampuni gano bakolagana n’abanene mu Gavumenti era ne bwe babeera bakunyaze n’obawawaabira basobola okuyambibwa.

 Abamu ku baatutte okwemulugunya kwabwe ku CPS nga bawawaabira Nankunda akulira kkampuni ya The Eagles Super Vision.

Ekyewuunyisa minisitule evunaanyizibwa ku nsonga z'abakozi mu ggwanga kkampuni zino yaziwa olukusa olubakkiriza okutwala abakozi mu mawanga g'ebweru.

Rt. Col. Edith Nakalema akulira ekitongole ekirwanyisa enguzi mu maka g'obwapulezidenti yazinze kkampuni ya Middle East Consultants Ltd ku Lwokubiri ne Khaleeg Agency ku Lwokuna gye yakwatidde abawala abakunukkiriza mu 100 nga babasuza mu buyumba obufunda.

fiisi ya he agle uper ision e mengoOfiisi ya The Eagle Super Vision e Mmengo

 

Kiteeberezebwa nti baabadde bagenda kukusibwa batwalibwe mawanga g'Abawalabu.

Ku Lwokusatu lwa wiiki eno, poliisi ya CPS mu Kampala yaggalidde Rodney Nankunda addukanya kkampuni ya The Eagle Super Vision oluvannyuma lw'abavubuka abasoba mu 80 okumuloopa nga bwazze abaggyako ssente eziri wakati wa 2,000,000 ne 8,000,000/- ng'abasuubizza okubafunira emirimu.

Bamaze omwaka mulamba tabatwala era nga yagaana n'okubaddiza ssente ze yabaggyako.

Oluvannyuma lw'okubabuzaabuza okumala ekiseera ekiwanvu baawaliriziddwa okuddukira ku poliisi ya CPS okunoonya obwenkanya era ne baggulawo emisango ku fayiro ez'enjawulo.

Wadde nga Nankunda yakwatiddwa kyokka ofiisi ze ku Balintuma Road e Mmengo zikyakola era Bukedde we yatuukiddewo yasanzeewo abeewandiisa ku mitwalo 30 buli omu.

Abaawaabye kyabaweddeko Nankunda bwe yabeesimbye mu maaso nga n'abaserikale weebali n'abategeeza nti; "nze sirina ssente zaakubaddiza kuba nazikozesa okukola ku biwandiiko byammwe".

ABAANYAGIBWA BAWADDE OBUJULIZI

Joseph Kyambadde omutuuze w'e Najeera mu Kira y'omu ku bakaaba kuba baamuggyako 3,000,000/- ze yatunda mu poloti ye oluvannyuma lw'okumusuubiza nti ssente bwe ziba weeziri agenda kutambula mu wiiki bbiri zokka nga buli kimu kiwedde.

Ensimbi zino yazisasula mu January w'omwaka guno era ng'alina esuubi nti bwaba atuuse e Dubai n'akola omulimu gw'obukuumi ng'asasulwa akakadde 1,500,000/-. Wayise emyezi munaana nga tafuna ssente ze.

Nabil Musa w'e Ndejje mu Makindye yasasula 5,000,000/- ezaamusabibwa ng'agenda kukola gwa bukuumi e Dubai era ng'ensimbi zino yazisasulamu emirundi ebiri. Kyokka buli lwagezaako okubanja ssente ze, Nankunda amuddamu nti; "ky'ogamba oyagala kutabuka ku bukadde butaano bwokka bwe waleeta?.

Goreth Birabwa owe Gayaza yasasula 4, 300,000/- ng'as-uubiziddwa okugenda okukola omulimu gw'okulongoosa e Dubai.

Agamba nti ekyasinga okumukyamula n'asasula ne ssente mu January w'omwaka guno bamugamba nti asitula mu bbanga lya wiiki satu zokka era ng'omusaala yali waakufuna 1,300,000/- buli mwezi. Talina kye yali alabye.

Asuman Maneno we Nansana; okumanya ebikwata ku Eagle Super Vision n'awulira birango ku Radio emu mu Kampala era olw'okuba nali ndi mu bwetaavu okufuna omulimu gwe Dubai nadduka mangu ne bambulira emirimu gye balinawo n'ebyetaagisa.

Nasasula ssente mu September wa 2018 obukadde 2,220,000/- mu buliwo era bansuubiza okugenda oluvannyuma lw'omwezi gumu naye kati waakayita emyezi 11 nga ninda.

Musa Katende owe Nabbingo mu Wakiso; Nawulira akalango ku leediyo nga kalanga kkampuni ya Eagle Super Vision nti etwala abantu ebweru era bangi baganyuddwa. Nasitukiramu era mu February nasasula ez'okwewandiisa 300,000/-.

Bampita ne nkola yintaviyu era bwe nayita ne bandagira okunoonya 7,500,000/- okusobola okunkolera ku Visa n'ebirala ebyetaagisa mu bwangu. Natunda byange okufuna ssente , kyokka ne gye buli eno byafuuka gannyana. Paul Ssegembe w'e Mutundwe; Nasookera mu kkampuni ya Middle East naye ne siyambibwa olw'okumbuzaabuzanga nga sifuna kituufu.

Eyo nali nsasuddeyo za kwewandiisa zokka. Mba ndyawo kojja wange n'ang'-amba nti alina abantu b'amanyi mu Eagle Super Vision era neng'endayo ne bampandiika. Nasasulayo 2,500,000/- naye oluvannyuma ne bang'amba nti balina mirimu gy'abal-ongoosa era bwe nalaba nga bambuzaabuza ne mbasaba ssente zange kye baagaana.

Lawrence Mulema ow'e Mmengo; kkampuni ya Eagles nagirabira ku face book nga balanga nti bafunira abantu emirimu egy'enjawulo omuli okuyonja, ogw'obukuumi, okuvuga emmotoka n'ebirala kwe kusalawo ntuukeyo ndabe n'okwogerako nabo.

Bwe natuukayo bannyinnyonnyola buli kimu era ne bantegeeza nti nsasula obukadde bubiri n'okwe-wandiisa emitwalo 30 nga bwe kiggwa ffe tujja kukusindika osooke okole ng'otusasula okumala emyezi mukaaga.

Ssente yazeewola mu SACCO naye tagendanga. Noah Bwete owe Mutundwe Kisigula: Oluvanyuma lw'okugwa mu bya bizinensi naweebwa amagezi okugenda ebweru njiyiizeeko eyo era ensimbi ezigenda zaampebwa mwanyinaze. N'addukira mu Eagle kyokka nayo ne bang'amba nti egy'okukuuma tegiriiyo okuggyako ng'akola gwa kulongoosa.

PASIPOOTI BWE BAGIKUGGYAKO OKUGIFUNA OSIITAANA

Salima Namusisi ow'e Najjanankumbi; Nagenda okukola e Saudi Arabia mu 2016 ne mmalayo emyaka gyange ebiri.

Nagendera mu kkampuni ya JAG security Group esangibwa e Kabalagala okuliraana poliisi. Bwe nakomawo ebbanga lye bampa okuddayo lyayitako olw'ebizibu bye nafuna mu kiseera ekyo, nga ne ssente z'ennyonyi sizirinaawo.

Kyokka nafuna obuzibu bwa ssente nga sikyalina wadde eza tiketi. Bwe naddayo mu kkampuni eyantwala okubasaba Paasipooti yange bagaana nga bagamba nti nnina kuddayo. Bwe nawaliriza oluvannyuma ne nzirayo bankomya ku kisaawe ne bankomyawo nga bagamba nti nnina kulinda wayitewo myaka esatu.

Wabula obuzibu bwe nsanze, pasipooti yange baagikwatira ku kisaawe e Ntebe nga baagala male okusasula ssente z'enyonyi eyankomyawo wano.

Baagala 1,600,000/-. Kkampuni ya JAG Security Group ngyekubyeko naye egaanye okuzisasula wadde nga be bandagira okuddayo.

Emboozi zino ziri wansi w'enkwatagana wakati wa Vision Group ne DGF okutumbula eddembe ly'obuntu n'okufuna obwenkanya.