'Nakutukako omukono nga ndi ku kyeyo'

Pascio Mutuba 50; Nnali ku kyeyo mu Iraq gye yali ng’egenze okukola ogw’obukuumi ekimotoka ne kintomera ne mmenyeka omukono n’embiriizi ne mmala mu kkoma wiiki ssatu.

 Pascio Mutuba

Bwe nafunamu olungubanguba natikkibwa ku nnyonyi ne nkomezebwawo mu Uganda era natuukira Mulago olw'embeera embi gye yalimu.

Mutuba anyonyola nti okusinziira ku ndagaano gye yakola ne Kkampuni ya Triple Canopy mu kiseera kino nga yakyusa erinnya n'etuumibwa Gideon's Men yali eraga nti singa afunirayo obuzibu yalina okufuna obujjanjabi nga busasulibwa kkampuni ya Yinsuwa eyitibwa Chartis Insurance mu Amerika.

Eky'ennaku emyaka 10 egiyiseewo bukyanga afuna akabenje akaamulemaza.

Yinsuwa yalina okunsasula obukadde bwa ddoola 25, naye bampaayo emitwalo gya ddoola 10 gyokka.

Yawalirizibwa n'okutunda poloti ze bbiri okwali n'ennyumba asobole okufuna ssente ze yateeka akawunti ye ekitebe kya Amerika kisobole okumuwa viza.

Ekyali kimutwala mu Amerika yayagala kuggulawo omusango ku kampuni ya Chartis Insurance eyalina okumuliyiririra.

Kyokka bwe yatuukayo ne bamuwa amagezi okukomawo aguwaabe mu Uganda kuba gwali guyiseeko ekiseera.

Mu kiseera kino sirina kye nnina kubanga natunda poloti zange bbiri omwali n'amayumba nga noonya obwenkanya naye nakolera busa sirina kye nafunayo.

Kati abaana tebasoma, ate nange nneetaaga ssente z'obujjanjabi buli mwezi 130,000/-. Mpulira nga binyiinze kubanga sirina mulimu.