Bakutte takisi mwe babbira abantu

POLIISI ya CPS ekutte takisi erudde ng’ebbirwamu abasaabaze ku nguudo ez’enjawulo mu Kampala n’omwezi oguwedde yakwatibwa ku musango gwe gumu.

 Ronald lwe yasooka okukwatibwa ate n’ayimbulwa.

Takisi nnamba UAV 545J y'erudde ng'abasaabaze bagyemulugunyaako ng'emisango bazze bagiroopa ku poliisi ezenjawulo.

Omwezi oguwedde Kizza Sserwadda 32, ow'e Makerere Kavule yaddukira ku poliisi y'oku Kaleerwe n'aggulawo omusango ku fayiro nnamba SD REF:36/12/9/2019.

Sserwadda yategeeza nti yalinnya takisi eno mu September ku luguudo oludda e Gayaza ne bamubbako 1200,000/.

Mu kukwata takisi omugoba waayo eyategeerekeseeko erya Ronald yadduka abaserikale ne balagira nnannyini yo Abdallah Kasujja okumukwata.

Kasujja yakwata Ronald n'amukwasa poliisi y'oku Kaleerwe n'akkiriza okusasula Sserwadda, ne bamuta.

Kyokka ku Lwokusatu poliisi ya CPS yazzeemu okukwata takisi eno ku nsonga y'emu Ronald n'adduka.

Kasujja yategeezezza nti bannanyini mmotoka tebalina buzibu wabula be baziwa, n'asaba poliisi ku luno emuwe emmotoka ye kuba omusibe yamukwata ate bo ne bamuta.