Abafumbo batabuse ne baanika obuziina bwabwe

Abafumbo batabuse ne baanika obuziina bwabwe

HAISHA Mbabazi ne bba Naboth Asiimwe ebyama by'omu maka gaabwe baabyanise mu lujjudde.

Buli omu alangidde munne emize gye. Asiimwe yalumirizza Mbabazi okukwata mu waleti ye n'abbamu 30,000/- n'azinywamu omwenge.

Olutalo lwabaluseewo ne bakubagana era mu kanyoolagano Asiimwe yayokezza Mbabazi omukono.

Mbabazi yeerwanyeeko n'atwala Asiimwe ku poliisi y'oku Kaleerwe n'ategeeza nti kituufu ssente za bba yazibba kyokka ekibonerezo ky'okumwokya omukono kyabadde tekisaana.

Omukazi era yeekangabirizza n'agamba nti okukwata mu waleti ya bba talowooza nti musango era ebyo bba by'asaba poliisi okubaawukanya tajja kubikkiriza. Bano batuuze b'omu Ssebina Zooni mu muluka gwa Makerere III e Kawempe. Byabaddewo gye buvuddeko