Bobi Wine bamusondedde ddoola mu Amerika

Bobi Wine bamusondedde ddoola mu Amerika

 Bobi Wine

ABANTU ab'enjawulo mu Amerika ne Canada basondedde Bobi Wine ddoola n'abalala ne bamusuubiza ssente okuwagira enteekateeka z'okuvuganya Obwapulezidenti mu 2021. Kyokka Gavumenti ebiyingiddemu n'ejjukiza Bobi Wine etteeka erimulagira okusooka kuzanjula mu Gavumenti.

Etteeka lyassaawo ekitongole kya Financial Intelligence Authority (FIA) ekirondoola entambuza ya ssente eziyingizibwa mu Uganda n'ezifuluma ebweru. Likkiriza omuntu okuyingiza omuwendo gwa ssente z'ayagala mu ggwanga kyokka alina kusooka kuzanjulayo mu Gavaumenti.

Etteeka lyayisibwa mu 2013. Lirambika nti bubeera buvunaanyizibwa bwa muntu, bbanka oba ekitongole kyonna ky'akozesezza okutambuza ssente zino okuzanjulayo. Bw'atakikola avunaanibwa era ssinga bamusaba okuwaayo ebiwandiiko ebikwata ku ssente zino talina kugaana.

Bobi Wine yatuuse mu Amerika wiiki ewedde okunoonya ensimbi z'anaakozesa mu kalulu ka 2021. Ku nkomerero ya wiiki ewedde, yabadde ku kijjulo ne meeya w'ekibuga Boston, Jeanette McCarthy n'amusuubiza okumuwagira.

Jeanette yategeezezza nti obumalirivu Bobi Wine bw'ayolesezza bwoleka lwatu nti ajja kusobola okutuusa Uganda ku kukyusa obuyinza mu mirembe. Bobi Wine yayogeredde ku Boston TV n'ayogera ku nsonga ez'enjawulo ezikwata ku Uganda. Ku lugendo luno ajja kusisinkana Bannayuganda abali e Seatle mu Washington State ne San Francisco mu Los Angeles.

Gattako abali e Toronto mu Canada. GAVUMENTI EYANUKUDDE Shaban Bantaliza amyuka akulira ekitongole ekyogerera Gavumenti ekya Media Centre yategeezezza Bukedde nti Bannayuganda bagezi.

Bamanyi omuntu alina obusobozi okubakulembera so si muntu agenda mu Amerika okucamuukiriza abaliyo ng'alowooza nti be basalawo ku bukulembeze bwa Uganda. Yagambye nti bayinvesita abaagala okuleeta ssente mu Uganda bamanyi ekituufu. Bobi Wine ne bw'anaagendayo okwogera obulimba akimanye nti bali bamanyi Gavumenti gye bakolagana nayo.

Pulezidenti Museveni omwezi oguwedde yategeezezza omukutu gwa BBC nti Bobi Wine mulabe wa nkulaakulana mu Uganda. Yagenda mu Amerika n'ayogerera bubi Gavumenti ng'agezaako okulemesa abaagala okujja wano okusigawo ensimbi zaabwe. "Ekyo kitegeeza oyo mulabe wa nkulaakulana.

Bw'ogenda n'otegeeza abagwira nti tebateekwa kujja kusiga ssente mu ggwanga obeera oggudde olutalo ku nkulaakulana. Kati lwaki ye ayagala yeeyagaliremu?" Museveni bwe yategeezezza ng'ayanukula ebibuuzo bya Alan Kasujja owa BBC. Museveni yagambye nti eyo ye nsonga lwaki poliisi esazaamu ebivvulu bya Bobi Wine. Museveni ng'ayogera ne BBC yagambye nti mu buyinza taliiwo kuyisa bivvulu era Gavumenti ye teri mu kifo we bazannyira katemba.

Mu buyinza aliwo kukola ku nsonga ennene ezibobbya Uganda ne Afrika omutwe. N'ayongerako nti aliwo lwa bantu abamulonda kyokka aba NRM abamulonda bwe balimukoowa ne bamusaba aveewo ajja kutambula agende kubanga alina bingi ebimulindiridde okukolako mu makaage.

EBIBIINA EBIRALA KYE BIGAMBA Omwogezi wa DP Keneth Paul Kakande yategeezezza nti ekyo Bobi Wine ky'aliko bakiwagira kubanga bonna abali ku ludda oluvuganya balina ekigendererwa kimu kya kutwala buyinza kyokka tewali kibiina kimu kijja kuyimirirawo ku bwakyo kitwale obuyinza okuggyako nga beegasse.

Ayongerako nti buli lwe balaba omuntu abongerako ettoffaali bamwaniriza, okusinziira ku muggundu gw'ebyobufuzi ‘People Power' gw'etaddewo omuggundu ogulabika nti waliwo okugenda mu maaso.

Harold Kaija amyuka Ssaabawandiisi wa FDC yagambye nti FDC si yeeyogerera Bobi Wine kyokka ddembe lye okugenda okunoonya ssente.

ABA PEOPLE POWER KYE BAGAMBA Omwogezi wa People Power, Joel Ssenyonyi yategeezezza Bukedde nti okunoonya akalulu ke basuubira 2021 kyetaagisa ssente nnyingi kale kye bavudde batandikirawo okutalaaga buli wamu nga bazinoonya.

Kyokka eyo mu Amerika gye yagenze, Bannayuganda abaliyo be batuyita era tukyasuubira okugenda mu mawanga amalala kubanga nabo bazze batuyita. "Bantaliza ne banne baddembe okwogera bye baagala nga ffe tugenda mu maaso," Ssenyonyi bwe yagambye.

Okugamba nti Bannayuganda bamanyi omukulembeze gwe baagala abeera mutuufu era naffe kye tuvudde tusalawo okubanoonya gye bali. Tetugenze kunoonya bannansi ba Congo, tunoonya Bannayuganda. Yagambye nti Bannayuganda abeetabye mu kusonda ssente bakimanyi nti nnannyini mufu y'akwata awawunya.

Be bategeka enkuhhaana Bobi Wine z'agendamu era basonda ssente ne bamuweereza tikiti y'ennyonyi. Olugendo lw E mu byobu fuzi Yatandika ebyobufuzi bwe yeetuuma pulezidenti wa Ghetto.

Ennyimba ze ezimu aziteekamu ebigambo byobufuzi. Mu June 2017 baamulonda okuba omubaka wa Kyaddondo East, oluvannyuma lwa kkooti okusazaamu Musa Kantinti eyalondebwa mu kalulu ka bonna mu 2016. Mu September 2018 nga banoonya akalulu k'omubaka wa munisipaali ya Arua, Bobi Wine yakwatibwa amagye ne bategeeza nti baali bamusanze n'emmundu kyokka oluvannyuma emisango ne gimuggyibwako.

Akavuyo akaali mu Arua kafiiramu Yasin Kawuma gwe baakuba essasi mu kifuba. Kawuma yali ddereeva wa Bobi Wine. Yafuna ebisago mu kukwatibwa ne bamuggalira munkambi e Makindye okumala ekiseera era olwavaayo n'agenda mu Amerika okufuna obujjanjabi. Atera okugenda mu Amerika.

Gye buvuddeko Pulezidenti Museveni yamulumiriza okwogera obulimba ku gavumenti n'okukunga abagwira obutajja kukolera wano wadde okuwa Uganda obuyambi.

MUNNAMATEEKA ANNYONNYODDE Munnamateeka Derick Bazzekuketta yannyonnyodde nti etteeka erikugira okukukusa ssente lirambika nti omuntu terimugaana kuleeta muwendo gwa ssente z'ayagala mu ggwanga wabula abeera olina kuziyisa mu bbanka.

Kikakkata ku bbanka okwetegereza ssente ezo n'agiraga gye zivudde. Ssente ziteekwa okulagibwa gye zivudde era za kigendererwaki. Bobi Wine singa abeera asonze ssente mu Amerika, alina okulaga ebizikwatako.