Abooluganda batabuse n'omuzzukulu eyatunze ekiggya

ABOOLUGANDA batabuse lwa muzzukulu kutunda ttaka lyabwe okuli n’ebiggya nga tebamanyi.

 Ssemakula (ku kkono) omu ku ba ffamire. Mu katono ye Magala.

Enkaayana ziri ku kyalo Kanywamusulo e Buwambo mu Wakiso wakati mu baffamire y'omugenzi Yokana Katende Buliggwanga ng'entabwe eva ku muzzukulu, James Magala agambibwa okusala poloti ku ttaka ly'ekiggya eriri ku yiika 8 ne desimoolo 74 n'alitunda.

Abooluganda abaakulembeddwa Abdallah Ssemakula 55, ow'e Ttula - Kawempe baatutte ttulakita basende ennimiro z'abantu be bagamba nti beesenza ku kibanja kyabwe mu bukyamu.

Kyokka baabadde tebannasenda Magala n'atuuka n'omusajja eyagambye nti mbega wa poliisi e Kasangati ne bagaana aba ttulakita okusenda ekintu kyonna ng'era Magala yabagambye nti y'alina obuyinza.

Ssemakula yategeezezza nti ekibanja kyabwe kiri ku ttaka lya Ssempebwa nga kyali kya jjajjaabwe Buliggwanga eyafa mu myaka gye 70.

Yagambye nti ekibanja kyaliko yiika 8 ne desimoolo 74 ng'omugenzi yagenda okufa yali awaddeko bannyina yiika 6 mu buwandiike nga yiika ebbiri yazirekera ffamire nga kwe kuli n'ekiggya omuzzukulu ky'atemyetemyemu poloti.

"Magala mwana wa muganda waffe talina buyinza kutunda kibanja kya ffamire kuba we wali n'ekiggya we batuziika.

Ekisinga okwewuunyisa ensonga ziri mu kkooti ate ekibanja akitunze akimazeewo n'ebiggya n'abitwaliramu kati bagenda kutuziika wa n'abaana baffe?

Simanyi oba abaagula Magala yabalaga ku mpapula eziraga nti ekibanja akirinako obwannannyini," Ssemakula bwe yagambye.

Magala yategeezezza nti alina ebiwandiiko byonna ebiraga nti ekibanja y'akirinako obuvunaanyizibwa kuba kitaawe, omugenzi Fred Ssemwogerere yakimuwa mulamu nga naye kyamuweebwa jjajja we Buliggwanga nga buli ky'akola akikolera mu mateeka.

Yagasseeko nti ffamire yalina ettaka e Banda yiika 11 bakitaabwe abamwesimbyemu baalitunda ne balekawo yiika emu okuli ebiggya ng'eno naye yalinayo omugabo gwa yiika emu nayo baagitundiramu nga kati obuufu babwolekezza Buwambo. Charles Sserunjogi muganda wa Magala yategeezezza nti kitaabwe