Gav't etongozza enteekateeka ya 'Pawa Kapo' ey'okutendeka bakamyufu

MINISITA w'eby’amasanyalaze n’obugagga bw’omuttaka Eng. Irene Muloni atongoza entekateeka empya gavumenti mwegenda okuyita okutendeka bakamyufu bonna ababadde benyigira mu kuyungirira amasanyalaze ekibadde eky’obulabe eri abantu n’ebintu byabwe .

 KU (kkono ) Minisita  Ying . Irene  Muloni  ng'atongoza  enkola ya Pawa Kapo  ey'okutendeka bakamyufu ate ku (ddyo)  Ying. Ziria Tibalwa Waako  akulira ekitongole ekirung'amya enkozesa y'amasannyalaze

MINISITA  w'eby'amasanyalaze  n'obugagga bw'omuttaka  Ying. Irene Muloni atongozza enteekateeka empya  gavumenti mw'egenda okuyita okutendeka   bakamyufu  bonna ababadde benyigira mu kuyungirira    amasanyalaze ekibadde  eky'obulabe eri abantu n'ebintu byabwe .

Enteekateeka eno etuumiddwa "PAWA KAPO" yatongozeddwa ku Lwokusatu ng'egendereddwa okutendeka  ku bwerere ababadde bayungirira amasannyalaze mu bukyamu  bafune ebbaluwa ezibasobozesa okukola nga balina olukusa .

Minisita Muloni yagambye nti Pulezidenti Museveni alina enteekateeka  y'okubunyisa  amasannyalaze mu bitundu  by'eggwanga  eby'enjawulo naddala mu byalo  n'amakolero nga abatendekddwa  baggya kwanguyizzaako okubayungako mu bulambulukufu  mu mayumba gaabwe  yonna gye bali .

Yagambye nti ennyumba za bantu nnyingi zibadde zikwatta omuliro  ne bafiirwa ebintu gattako abamu okufiiramu .

Yayongeddeko nti bafunye doola 200,000  okuva mu bbanka y'ensi yonna nga ze zigenda okuyambako okubunyisa omulimu guno mu bitundu by'eggwanga byonna nga batendekebwa mu bitundu ebyenjawulo.

Ying. Ziria Tibalwa Waako nga yakulira ekitongole ekivunaanyizibwa ku kubunyisa amasannyalaze  ekya ERA yagambye nti bagenda kutandikira ku bakammyufu  4000 wabula baakafunako   2,700  nga bagenda kutendekebwa  mu bitundu  by'eggwanga eby'enjawulo bakwasibwe ebbaluwa.  

Yayongeddeko nti kino  kigenda kuyambako okutondawo  emirimu eri abantu ababadde be bibbirira ne bakole omulimu mu bulambulukufu .

Yayongeddeko nti bano era bagenda kuyambako ekitongole ky'amasannyalaze mu kugayunga naddala mu bitundu by'omu byalo  gavumenti gy'egenda ng'ebunyisa amasannyalaze.