Ssentebe bamukutte lubona ng'asinda omukwano ne muk'omutuuze

Ssentebe wa LCI akwatidwa lubona ng'anyumya akaboozi k'ekikulu ne muk'omutuuze.

Bya Mponye Ivan

Ssentebe wa LCI akwatidwa lubona ng'anyumya akaboozi k'ekikulu ne muk'omutuuze.

Ndawula Mutebi ng'ono y'atwala ekyalo Kiyirikiti - Nyendo mu disitulikiti y'e Masaka ye yakwatiddwa nga yeegadanga ne Hadijja Nannyonga muka Abdul Nkoba bonna abatuuze ku kyalo Kiyirikiti.

Nkoba  agamba nti yagatibwa ne mukazi we nga 8/9/2001 bamaze emyaka 18 mu bufumbo  era amulinamu abaana bataano.

Ono ategeezezza Bukedde nti amaze ebbanga lya mwaka mulamba nga bamuwa amawulire ga mukazi okwegadanga ne ssentebe.

Yaludde ddaaki n'atandika okwekengera entambula za Nannyonga ekyamuviiriddeko okusuula enkessi okutuusa lw'abakutte lubuno nga beeraga mapenzi.

Nkoba akoola ogw'okuvuba ebyennyanja agambye nti annyoleddwa nnyo olwa mukazi we okwenda ne yejjusa ne ssente ennyingi ze yassa mu kumwanjula n'agamba nti taziwadde kitiibwa n'adda mu kuweebuula ekkula ly'obufumbo.

ENGERI GYE YALUSEEMU OLUKWE OKUMUKWATA

Nkoba agamba nti wakati ng'amaze okukakasa obwenzi bwamukaziwe yafuna bambegabe abekyaama nebatandika okumulinya akagere  balabe nga bamukwata.

Nkoba agamba nti bambega be bamutegeezezza nga Hadijja ewa Ndawula abadde kumpi yafuulayo makaage nga obudde bw'ayagala bw'agenderayo nga n'oluusi asulayo naddala ennaku bba Nkoba z'abeera mu safaari ku bizinga.

Bambega ba Nkoba baaliimisizza Hadijja ng'amaze okwesogga enju ya ssentebe ne bamukubira olwo n'alinnya okuva ku bizinga era mu Nyendo yatuusemu ng'obudde busaasaana.

Nga 15/11/2019 Hadijja yasimbula ewaka ku  saawa satu ezekiro negenda ku kateeti kandawula akatono era nakubira Ndawula esimu najja namugulira.

Bambegabe bayuta nkoba bukubirire era  wabula nebamutegeeza nga ensonga ezo bweziri bwezetagisaako omukazi ate nga bba abasirikale balina bassajja bokka era nebamugira okozese ba crime preventer era nga bano bakoledde dala omululimu.

Nkoba ng'ali wamu ne bambega be n'aba LDU baakonkonye ssentebe  ne bamutegeeza nga bwe balina emisango beetaaga buyambi bwe kyokka n'abategeeza ng'obudde bwe bukyali bwa kiro wabula ne balemerako okutuusa lwe yapondoose n'aggulawo.

Nkoba yamusoyezza kajjogijjogi w'ebibuuzo n'okumukanda amubuulire wa mukazi Hadijja gy'amukwese bw'atyo ssentebe n'agonda n'abayingiza mu kisenge.

 koba nnannyini mukazi Nkoba nnannyini mukazi

Ono yazze okuggulawo ng'ali bukunya tayambadde kuba yawenjudde kateni era ne Hadijah naye yasangiddwa ng'ali bute nga bwe yazaalibwa.

Bano baatwalidwa ku poliisi y'e Masaka okwongera okulondoola ensonga zaabwe Nkoba n'aggula ku ssentebe omusango gw'obwenzi ku fayiro nnamba SDREP: 43/09/11/2019 .

Nkoba bakira awoza kimu 'Nannyonga nkumaze todda mu maka gange' kyokka ng'eno Nannyonga akalambidde awoza kimu 'Sirina gyendaga, siva mu ddya nnina okudda mu baana be bange nfumbe.

 ayiro yomusango Fayiro y'omusango
 mbaga ya koba mukazi we adijja gwe yakwatidde mu bwenzi Embaga ya Nkoba mukazi we Hadijja gwe yakwatidde mu bwenzi