Ow'emyaka 12 bamusse mu bukambwe: Baasoose kumusobyako!

ABATEMU abatannategeerekeka bakkakkanye ku mwana abadde yaakawummula ne bamusobyako ne bamutta omulambo ne bagusuula mu lusuku.

 Owa polisi n’abantu abalala nga basitudde omulambo gwa Shakira Mpande.

Shakirah Mpande Muwadde 12, abadde omuyizi ku ssomero lya Alpha and Omega Primary School ng'abeera ku kyalo Bukabala ekisangibwa mu divizoni y'e Njeru mu disitulikiti y'e Buikwe.

Yasimbudde ekiro ku ssaawa 2:00 ku Mmande ng'agenda ku mudaala gwa jjajjaawe Madinah Wailagala okukima omuceere gwe baabadde bagenda okulya ekyeggulo.

Kyokka jjajjaawe yakanze kulinda muzzukulu we nga tamulaba era kyamubuuseeko okuddayo awaka ku ssaawa 4:00 ne bamutegeeza nti Mpande yabadde yavuddewo awaka ng'azze ku mudaala kukima muceere.

Abatuuze baakuhhaanye ne batandika omuyiggo gw'okunoonya Shakirah nga talabikako, okutuusa lwe baakeesezza obudde ng'akyababuze.

Jajja Wailagala yabadde ateekateeka okugenda ku poliisi aloope ng'obudde bukedde, omwana n'ajja ng'akuba enduulu nti mu lusuku alabyemu omwana eyeebase ng'ali bwereere.

 booluganda lwomuwala hakira pande eyasobezeddwaako nattibwa nga bali mu lusuku awaasuuliddwa omulambo Abantu nga bawuniikiridde olw'omuwala Shakira Mpande eyasobezeddwaako n'attibwa nga bali mu lusuku awaasuuliddwa omulambo.

" woowe  nze nfudde…., bakusobezzaako ne bakutta,  kale bandikoze byonna bye baagala ne bakulekera obulamu. Nze maama wo hhenda kumugamba ntya kuba yakumpa ng'anneesiga n'agenda e Iganga okukola,"

Bwatyo jajja bwe yakubye omulanga ng'alabye ku mulambo gwa muzzukulu we. Omulambo gwabadde gwambuddwa nga gwebasiddwa kyabugazi ng'obubonero obw'okungulu bulaga nti yasobezeddwaako n'oluvannyuma n'attibwa.

Engatto z'omugenzi zaabadde wabbali ng'ekiteeteyi kye yabaddemu kifunguddwa okudda waggulu era nga yenna ajjudde enkwagulo mu bitundu by'ekyama n'akawale k'omunda tekalabikako.

Jajja Wailagala yagambye nti waliwo omu ku baana eyamukubidde essimu n'amutegeeza nti bakooye okulya lumonde era bwatyo n'alagira Mpande agende akime kkiro y'omuceere gwe baba bafumba.

Ky'ataategedde nti baabadde bamusindika mu mbuga z'abatemu. Baasoose kulowooza nti omwana yabadde abuze era baasoose kuyisa birango ku bizindaalo by'okukyalo nga bamanyi ajja kulabika.

booluganda lwomuwala hakira pande eyasobezeddwaako nattibwa nga bali mu lusuku awaasuuliddwa omulamboAbooluganda lw'omuwala Shakira Mpande eyasobezeddwaako n'attibwa nga bali mu lusuku awaasuuliddwa omulambo.

Kyokka oluvannyuma obudde bwe bweyongedde ne batya nti wandibaawo ekizibu ekinene. Muzamir Mabinda ow'oluganda lw'omugenzi yagambye nti baanoonyezza ekiro kyonna buli wantu nga tebalina kye balaba.

Yagambye nti omugenzi yawummula Lwakutaano okuva ku ssomero gy'abadde asomera mu kisulo nga yabadde yaakamala awaka ennaku bbiri zokka n'afa ku lunaku olwokusatu. Ruth Babirye, omutuuze ku kyalo yategeezezza nti ekikangabwa ky'okusobya ku muntu n'attibwa kibadde tekibangawo mu kyalo kyabwe, okusinga babadde bawulira bya kukwata bakazi bakulu.

OKUSOBYA KU BAKAZI KUSUSSE

Abamu ku batuuze baategeezezza nti emuze gw'okusobya ku bakazi n'okukwata abaana gweyongedde mu kitundu. Mohammed Tenywa yategeezezza nti waliwo n'abaana abalala abazze bakwatibwa n'abakazi abakulu, kyokka tebatera kwogera.

Obuzibu abuteeka ku bbaala ezisusse okumeruka mu kitundu n'abantu abatamanyiddwa gye bava abasusse okusenga mu kitundu.

Veronica Nabutono, ssentebe w'ekyalo yasabye abazadde okufaayo eri abaana baabwe naddala mu luwummula n'ategeza nti abakulira ekyalo bagenda kuttukiza ebikwekweto naddala mu budde bw'ekiro okukwata abamenyi b'amateeka.

Akulira polisi ye Nyenga, Jimmy Tumwine yavumiridde ettemu lino wabula n'anenya abazadde olw'obutafaayo eri abaana naddala mu luwummula Okunoonyereza kwe baakakola kulaga nti omugenzi yasoose kusobezebwako.

Omulambo gwatwaliddwa mu ddwaaliro ekkulu e Jinja okwongera okwekebejjebwa.