Omuliro guzizza abasuubuzi emabega

Omuliro guzizza abasuubuzi emabega

EBINTU bya bukadde na bukadde bitokomokedde muliro ogusaanyizzzaawo emmaali y'abasuubuzi mu katale k'e Matugga. Omuliro guno gwakutte ku ssaawa 8:00 ez'ekiro ekikeesezza ku Lwokutaano nga gutandikidde mu sitoowa abasubuuzi mwe batereka emmaali yaabwe buli Lwakusatu n'Olwokuna bwe baba bagenda mu katale k'omubuulo.

Ebyamaguzi ebisinze okusiriira kuliko; engatto, endibota z'engoye, ensawo, obuwunga omuceere n'ebirala era bangi ku basuubuzi tewali asigazzaawo kantu Engeri omuliro guno gye gukuttemu guleetedde abasuubuzi okugutankana nga bagamba nti, kyandiba nga guvudde ku masannyalaze ate abalala bagamba nti waliwo ayinza okuba nga y'akumye omuliro guno.

Ekizimbe abasuubuzi mwe babadde batereka emmaali yaabwe kyonna kigudde ku ttaka ng'emiti gyonna gikutte omuliro okukkakkana nga kigudde era abatuuze nga bali n'abasubuuzi bagezezzaako okutaasa emmali yaabwe ekitasobose.

Abatuuze bagezezzaako okuyita poliisi ezikiza omuliro wabula bagenze okutuuka ng'ebyamaguzi byonna bimaze okusaanawo.

Abasubuuzi basabye Gavumenti ng'eyiita mu minisitule ey'ebigwa bitalaze okubayamba okubadduukirira kuba kati basobeddwa ate ssente zaabwe ezisinga zonna ziri mu mabanja.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emiriraano, Patrick Onyango yagambye nti batandise okunoonyereza ku ngeri omuliro guno gye gukuttemu wabula n'agamba nti wadde abatuuze bagamba nti guvudde ku masannyalaze bbo nga poliisi tebannaba kukakasa kwe gwavudde era bakyanoonyereza.