Muwala wa Nyombi Thembo asaliddwaako omukono

FAMIRE ya Nyombi Thembo eyita mu kaseera kazibu oluvannyuma lw’abaana baabwe babiri okugwa ku kabenje.

 Omwana mu ddwaaliro ne maama. Ku ddyo ye taata Nyombi Thembo

Omwana waabwe omuwala asembayo Condellezza Nakazibwe yasaliddwaako omukono mu Buyindi. "Mutusabire. Akaseera ke tuyitamu kazibu nnyo. Katonda eyatuwa abaana y'amaanyi.

Kye tuyitamu sikyagaliza muzadde mulala yenna," Nyombi bwe yategeezezza. Eggulo yakomyewo okuva e Buyindi gye yalese mukyalawe n'omwana waabwe.

Yajjidde ku nnyonyi ya Ethiopia. "Omukono gwa muwala wange bagusazeeko, kyokka obulamu buwonye. Bamujjanjaba ekiwundu ku mukono n'okugulu okwakosebwa ennyo", bwe yategeezezza. Akabenje kaaliwo nga November 17, ku Entebbe Expressway.

Dereeva wa Minisita yali aggye abaana ku ssomero (omuwala eyasaliddwaako omukono) ne Schwarzkopf Katende Kyetune ng'abatwala mu maka gaabwe e Garuga-Ntebe.

Emmotoka yafuna akabenje, ddereeva bwe yakasimattuka n'adduka ng'alowooza abaana ba Nyombi Thembo bafudde.

Thembo ye yali Minisita avunaanyizibwa ku kanyigo k'e Luweero n'akyusibwa okukulira Minisitule ya tekinologiya (Information, Communication Technology). Era yali mubaka wa Kasanda South n'awangulwa Semeo Nsubuga mu kulonda okwaggwa.

Abaana okusimattuka okufa baataasibwa Pasita Martin Sempa, Ying Kwesiga owa Uganda Communication Commission, omusajja eyategeerekeseeko erya Yasin, n'abalala abaddusa abaana ku Doctor's Clinic Seguku.

Wano we baggyibwa okutwalibwa mu Platinum Hosipital e Wandegeya. Eno omuwala gye yaddira engulu kyokka ng'asensebuse omukono.

Omulenzi yajjanjabibwa n'assuuka. Ate omuwala n'ayongerwayo e Buyindi. Omuwala yalongooseddwa mu kibuga New Delhi, mu ddwaaliro lya Apolo Hospital.

Mu bubaka eri famire n'emikwano, Nyombi yategeezezza: Nnawaliriziddwa nange okujja e Buyindi okubeerawo nga "Omulembeeri (Omulezi) Angella bamulongoosa," Twatidde nnyo naye olwa Katonda ayinza byonna, twongere kusaba, byonna bijja kuba bulungi.Kye tuyitamu saagala muzadde yenna akiyitemu.

Ssi kyangu bannange! "Twebuuza ebibuuzo bingi bye tutasobola kuddamu. Twongedde okuguma olw'engeri muwala waffe gy'alwanyisaamu obulwadde.

Buli lwe ngezaako okwebuuza nti Katonda wange lwaki ekintu ekinene bwe kiti kigudde ku nze? "Mpulira eddoboozi lya Mukama nga ligamba nti onooba mulungi omu, ssi ggwe assoose", Nyombi bwe yannyonnyodde. N'agamba: wadde tugumye naye ak'obuntu tekalema kutujjira.

Ssinga okukosebwa okwatuusibwa ku mukono ogwasaliddwaako kwali ku kitundu kirala, omwana teyandiwonye! Bwe yamala mu sweeta(theatre) essaawa mukaaga twatya nnyo, ate bwe yavaayo n'adda mu kifo awajjanjabirwa abayi nawo n'alwawo nnyo ne tweyongera okutya.

Kati embeera ekyuse ereeta essuubi. Omwana yasoose kukolwako abasawo ba wano okuli Dr. Luutu ow'eMulago ne Platinum ne Dr. Charles Kabugo akulira eddwaaliro ly'e Kiruddu.