
Bya Joanita Nakatte
Bannakibiina kya NRM nga bakulembeddwaamu ssentebe waabwe e Mukono, Hajji Twahiir Ssebaggala n'omubaka wa Pulezidenti e Mukono Fred Bamwine bakubye olukiiko okukakasa ebizze byogerwa ku ky'okutunda ebyobugagga by'ekitebe kya disitulikiti eno n'okubirwanirira.

Ebimu ku bino kwe kuli ettaka n'ebizimbe ebitudde ku kitebe kya disitulikiti eno era nga bino we bibeereddewo, ng' ettaka eririko ennyumba z'abasawo lyo lyatundibwa dda, nga n'ettaka okutudde ekitebe kya disitulikiti eno lyatemebwamu poloti ezisoba mu 43 ezirindiridde okugenda ku katale olwo ekitebe kisigaze yiika ttaano.
Bano baasoose kulambula kizimbe kya gavumenti omuterekebwa eddagala nga kino kyasangiddwa mu mbeera embi era ng'akulira abakozi e Mukono, James Nkata yalagira kibalirirwe bamanye ensimbi ezikigyaamu oluvannyuma kitundibwe.
Eno baasanze tekyaterekebwayo ddagala okuggyako ebisanduuke ebiweddemu era ng'ekizimbe kyetaaga kuddaabirizibwa.

Oluvannyuma baayolekedde ew'akulira abakozi e Mukono, James Nkata abannyonnyole lwaki yalagira ekizimbe kibalirirwe ate nga kaliisoliiso yali yawandiika ng'ayimiriza okutunda ebyobugagga bya disitulikiti eno, n'asaba abakungu ba NRM bano okumukkiriza abannyonnyole olwo ne beesogga akafubo akatakkiriziddwaamu bannamawulire.
Bakansala baagambye nti, baayisa ekiteeso eky'okusalamu ekyapa kya disitulikiti oluvannyuma lw'ebbanja okulinnya okutuukira ddala ku bukadde 215 aba Buganda Land Board e Mengo ze babanja era ne beekwasa nti, ebitongole bya gavumenti ebirala nga ofiisi ya RDC, kkooti, NIRA, ekkomera ly'e Kawuga n'ebirala bingi byali tebisasula ssente za bupangisa.

Abamu baateesezza nti, wabeewo n'ebimu ku byobugaga bya disitulikiti ebiba bitundibwa nga lufula y'e Kyetume, ekizimbe omutundirwa eddagala lya gavumenti n'ebirala basobole okusasula amabanja agabali mu bulago n'okumaliriza ekitebe kya disitulikiti eno.
RDC w'e Mukono, Fred Bamwine yagambye nti oluvannyuma lw'okuwandiikira kaliisoliiso wa gavumenti ku byali bigenda mu maaso ku nsonga zino, yaweebwa ekiragiro eky'okwogera n'akulira abakozi ku kitebe kya disitulikti eno, James Nkata obutabaawo kitundibwa kyonna era nga si wa kukkiriza nsonga eno kugenda mu maaso okutuusa nga gavumenti y'ewadde obuyinza.