Bamukutte lwa kumuteebereza kubba obukadde 19 z'abadde atwala mu bbanka

“Oba munsiba munsibe sirina ssente bazibbye bubbi lwa kuba simanyi ngeri gye bazinzibyeko oba bankubye kalifoomu simanyi n’ekifo we mbadde sikitegeera,” Kyeswa bwe yategeezezza.

 Kyeswa eyakwatiddwa

OMUWALA eyabadde atwala ssente za mukama we obukadde 19  mu bbanka n'alumiriza ababbi okuzimubbako bamukutte ne bamuggalia.

Diana Kyeswa 23, omutuuze w'e Mutundwe omukozi mu dduuka lya Equity Banking ku Kaleerwe ye yakwatiddwa poliisi y'omu kitundu n'emuggulako omusango ku fayiro nnamba SD REF: 58/12/12/2019 nga kigambibwa nti yabbye obukadde 19 ezaamuweereddwa okutwala mu bbanka  wabula n'akomawo n'abategeeza nti  bazimubbiddeko ku bboodabooda.

Kyeswa yategeezezza nti yavudde ku mulimu n'alinnya bboodabooda okumutwala e Wandegeya wabula teyazzeemu kutegeera nga yagenze okudda engulu nga w'ali tamanyiiwo olw'okuba abaamubbye baabadde bamubbyeko n'essimu yalinnye bboodabooda n'addayo ku mulimu n'ababuulira bbo ne bamukwata ne bamutwala ku poliisi.

"Oba munsiba munsibe sirina ssente bazibbye bubbi  lwa kuba simanyi ngeri gye bazinzibyeko oba bankubye kalifoomu simanyi n'ekifo we mbadde sikitegeera,"  Kyeswa bwe yategeezezza.

Catherine Nanziri 27, mukama wa Kyeswa yategeezezza nti Kyeswa muganda we ng'amaze naye emyaka ebiri nga bakola bombi ng'era azze atwala ssente mu bbanka n'azitereka wabula bazze bawulira nti ayagala kugenda bweru kukuba kyeyo nga kyandibanga we yasinzidde okubba ssente.

Yagasseeko nti Kyeswa yavudde ku mulimu ssaawa 9:00 n'alinnya bboodabooda okuva ku Kaleerwe ng'agenda Wandegeya mu Equity bbanka okutwalaayo ssente yakomyewo ssaawa 11:00 n'abasaba 4,000/ azisasule owa bboodabooda ng'agamba ssente bazimubbyeko n'essimu.

Oluvannyuma poliisi yaleese omusawo okuggyako Kyeswa omusaayi n'omusulo okukakasa oba alina ebirag'alalagala bye baamukubye okumubbako ssente nga Nanziri yaewereddwa amagezi agende ku Poliisi y'e Wandegeya ku bavunaanyizibwa ku kkamera z'oku nguudo bajja kuzuula entambula za Kyeswa.