Temunyigiriza bantu - Kabaka

KABAKA avumiridde okunyigiriza abantu nga baggyibwako eddembe lyabwe ery’obuntu n’agamba nti kikonzibya enkulaakulana.

 
Yayagalizza abantu be Ssekukkulu ey'essanyu kyokka ne yennyamira olwa kye yayise okulinnyirira eddembe ly'obuntu okweyongedde mu ggwanga.
 
"Tulabye engeri abakulembeze ab'enjawulo, bannamawulire n'abaana abatambuza emisomo gyabwe gye bayisibwamu ne twennyamira.Tumanyi nti eddoboozi ly'omuntu waabulijjo lye liyamba abakulembeze okutereeza empeereza", Beene bwe yaggumizza ng'ali mu Lubiri e Mmengo ku Mmande.
 
Yabadde asisinkana Abataka n'abakulu b'ebika mu Buganda ku mukolo kwe yabagabulidde Ssekukkulu. Omutanda yayogedde ne ku nsonga endala omuli ettaka n'agamba nti, "nnannyini ttaka tasaana kunyigiriza waakibanja ate n'oweekibanja alina okussa ekitiibwa mu nnannyini ttaka. Twagala okubeerawo n'enkola ennuhhamu.
 
Abataputa obulala enkola eno tebaagaliza Buganda n'enkulaakulana ya Uganda," Kabaka bwe yayongeddeko. Yasabye abali mu buyinza ne Palamenti okubeerako kye bakola okuzza emitima gy'abantu ku ttemu erigenda mu maaso mu ggwanga.
 
Yalabudde abantu okwewala obulwadde bwa siriimu ate n'asaasira Bannayuganda bonna abakoseddwa amataba n'okubumbulukuka kw'ettaka e Buduuda, Bundibugyo n'ebitundu ebirala.
 
"Njagala okutegeeza Abataka nti nja kugenda mu maaso n'okulambula Obutaka kubanga kikulu nnyo okubuddaabiriza budde mu mbeera eyeesiimisa, kisobozesa n'abantu baffe okubulambula" Kabaka bwe yagasseeko.
 
Ye omutaka Kayiira Gajuule Kasibante, omukubiriza w'olukiiko lw'Abataka yasabye Kabaka okubeeranga n'ensisinkano eyaawamu amuyambeko ku bazzukulu abali e Mmengo abatiisatiisa Abataka nti bwe batakola kye baagala baakusaba Kabaka asiime baggyibwe ku bukulu.
 
Yeeyamye nti Abataka baakugenda mu maaso n'okwetaba mu Lukiiko lwa Buganda, okukola emirimu gy'enkulaakulana ku butaka n'okulambulanga abazzukkulu.