Bajjo ne Abtex bagabudde abasuubuzi b'ewa Kisekka Ssekukkulu

Abasuubuzi mu katale k'ewa Kisekka balwanidde sooda ne nnyama ebibawereddwa abategesi b'ebivvulu Bajjo ne Abtex.

 Abasuubuzi nga basika ente

Olubadde okwogera nti "mwebale kwebeereramu, sseddume w'ente  ne sooda bibyo muyite mu ssekukkulu ne ssanyu,

Abasuubuzi abadde bakung'anidde ku mmotoka tebamulinze kumalayo byayogera, bagudde mu by'okunywa ne batandika okubirwanira ng'asinza amaanyi yafuna.

 abasuubuzi nga balwanira sooda abasuubuzi nga balwanira sooda

Ente bagisalidde mu kubbo era kabadde kaseera kazibu nga bagabaana ennyama anti ne wano ow'amaanyi nga yafuna.  

 

Bino bibadde mu katale k'ewa Kisekka emisana ga leero abategesi b'ebivvulu, Andrew Mukasa amanyiddwa nga Bajjo owa Bajjo Events ne Abby Musinguzi amanyiddwa nga Abtex gye babade nga bagabula abasuubuzi Ssekukkulu.

 ajjo nekizindaalo obwedda kwayogera Bajjo n'ekizindaalo obwedda kwayogera.

Ng'ayogerako gye bali, Bajjo abagambye nti kino bakikoze okubasiima olw'obuwagizi bwe babawadde nga bbo bannakisinde kya ‘people power' era agamba kino bagenda kukikola ne mu bitundu by'eggwanga ebirala.

Agasseko nti bagenda kukozesa omukisa guno okwebuuza ne ku bawagizi babwe ku ki kye bayinza okukola oluvannyuma lwa poliisi okugagaana okuddamu okutegeeka ebivvulu bya Bobi Wine ate nga ne mu kkooti gye baddukira tebanaba kufuna buyambi.