Iran ezzeemu okukuba enfo za Amerika

IRAN ekoze olulumba olulala ku nfo za Amerika mu kiseera w’ebadde erowoozebwa nti epondoose olw’akazito ensi yonna k’etadde ku Iran oluvannyuma lw’okukuba ennyonyi ya Ukraine n’efiiramu abantu 176.

 Ekimu ku bitundu ekyakubiddwa amagye ya Iran.

BAGHDAD, Mmande

IRAN ekoze olulumba olulala ku nfo za Amerika mu kiseera w'ebadde erowoozebwa nti epondoose olw'akazito ensi yonna k'etadde ku Iran oluvannyuma lw'okukuba ennyonyi ya Ukraine n'efiiramu abantu 176.

Omukambwe wa Iran, Ayatollah Ali Khomeini aweerezza obubaka obwogera ku lulumba luno n'agamba:

Twagala ensi yonna ekimanye nti Iran terina ky'etya. Tunyweredde ku bye twasalawo okukuba Amerika n'eggwanga lyonna erinekiika mu kkubo lyaffe.

Obulumbaganyi bwakoleddwa mu kiro kya Ssande, ebikompola munaana eby'ekika kya Katyusha enkola ya Russia bwe byakubiddwa mu nkambi y'amagye ga Amerika n'aga Iraq eyitibwa Balad Joint airbase, eyeesudde mayiro 50 mu bukiika kkono
bw'ekibuga Baghdad.

 baserikale ba merika nga beewuunaganya ku ngeri ran gye yakubye enfo yaabwe esangibwa mu kitundu kya inal sad mu raq Abaserikale ba Amerika nga beewuunaganya ku ngeri Iran gye yakubye enfo yaabwe esangibwa mu kitundu kya Ain-al- Asad mu Iraq.

 Enkambi eno erimu abaserikale 1,500 esinga kukozesebwa mu kutendeka abajaasi ba Iraq era ekiriko ne ggalagi obwaguuga ey'ennyonnyi ennwaanyi naddala ekika kya F-16 aircraft.

Ebikompola ebimu byagudde ku kifo abajaasi we baliira emmere, ebirala ne bikuba ku
luguudo ennyonnyi we zibuukira.

Ekitebe kya Amerika eky'Ebyokwerinda ekya Pentagon kitegeezezza nti tewali mujaasi
waabwe yenna yattiddwa mu bulumbaganyi okuggyako abajaasi ba Iraq bana abaafunye ebisago.

 

Buno bwe bulumbaganyi obw'omulundi ogwokubiri nga Iran esomooza Amerika.

Obulumbaganyi obwasoose bwakoleddwa mu kiro ekyakeesa Olwokusatu oluwedde ku nkambi za Amerika bbiri- ey'e Ain al-Asad mu ssaza ly'e Anbar n'etterekero ly'ebyokulwanyisa mu kitundu ky'e Erbil mu Iraq.

Amagye ga Iraq gaategeeza nti Iran yanyugunya mizayiro 22 nga tetalizza naalumanya na saalumanya kyokka Trump yasekerera aba Iran nti bumizayiro
bwabwe tebulina kye bwakola era obumu n'okwabika bwalemwa okwabika ate obwayabika tebwasimula wadde akayinja mu ttaka mu nkambi za Amerika n'olwekyo baamala biseera byabwe.

 mujaasi wa merika mu nfo yaabwe eyakubiddwa Omujaasi wa Amerika mu nfo yaabwe eyakubiddwa.

Obulumbaganyi obwo, Iran yabukola okwesasuza okutta omuduumizi w'amagye w'ekibinja kya bamuntusolo ekya Quds Forces Gen. Qassem Soleimani eyakubwa mizayiro za Amerika zimutasubwa nga January 3, bwe yali mu luseregende lwa mmotoka ng'ava ku kisaawe ky'ennyonyi mu kibuga Baghdad gye yali yaakatonnya ng'ava mu Syria.

Gen. Soleimani yattibwa ne munnamagye wa Iraq, Abu Mahdi al-Muhandis ng'ono muduumizi w'ekibinja ekyomutawaana ekya Hashd al-Shaabi ekiwagirwa Iran
okulwanyisa amagye ga Amerika agali mu Iraq.

Mu lulumba lw'oku Ssande, Iran yeeyambisizza ebikompola bya Katyusha so nga mu lulumba olwasooka Iran yeeyambisa mizayiro za bika bibiri; Fateh-110 ne Qiam1 nga zino ze zimu ku mizayiro Iran z'esinga okwesiga era nga zaakubwa okuva munda
mu Iran.

Wabula mu lulumba lw'oku Ssande, ebikompola byakubiddwa okuva mu kitundu ky'e Fadhlan mu disitulikiti y'e Dujail mu pulovinsi y'e Salahuddin esangibwa mu bukiika kkono bwa Iraq.

Omwogezi w'ekitebe ekya Pentagon, Rebecca Rebarich yalabudde Iran okukomya effujjo lyabwe n'agamba nti Amerika etandise okunoonyereza okuzuula ebyabadde n'oluvannyuma ensi egenda kumanya ekibonerezo Iran gy'egena okufuna.

Obulumbaganayi bw'akoleddwa nga tebusuubirwa kubanga Iran eri kasattiro olw'amawanga agenjawulo agagiri obubi oluvannyuma lwa mizayiro zaayo okukuba ennyonyi ya Ukraine n'efiiramu abantu 176 ng'abasinga nzaalwa z'e Canada.