Bobi Wine asazeewo ku by'okumwegattako

BOBI Wine obubaka bwe yawadde mu kuziika maama w’omubaka Mwiru butadde ab’oludda oluvuganya mu kattu, abamu ne bagamba nti yabalekedde okusalawo ku bintu bibiri; okumwegattako oba okwesunsulira abaabwe beesimbewo.

 Omukulembeze wa People Power, Robert Kyagulanyi (Bobi Wine) ng’ayogera eri abantu e Nkumba.

Bya KIZITO MUSOKE, LAWRENCE KITATTA, MUWANGA KAKOOZA ne HANNINGTON NKALUBO
 
BOBI Wine obubaka bwe yawadde mu kuziika maama w'omubaka Mwiru butadde ab'oludda oluvuganya mu kattu, abamu ne bagamba nti yabalekedde okusalawo ku bintu bibiri; okumwegattako oba okwesunsulira abaabwe beesimbewo.
 
Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) akulira People Power era nga ye mubaka wa Kyaddondo East mu Paalamenti yagambye nti, tewali budde bwa kudda mu nkiiko kusalawo ani anaavuganya Pulezidenti Museveni mu kalulu ka 2021 kubanga gwe baagala okuvuganya naye awo yayitawo dda.
 
Yagambye nti ye yasimbudde dda era n'agattako nti, "Abaagala enkyukakyuka mwenna mbasaba tukwatagane mu budde buno, abalala tukwatagane mu kkubo nga tutambula ate abalala tujja kukwatagana mu maaso nga tuwangudde mu kiseera ky'okwambala engule."
 
Yagambye nti, ye omuliro takyaddiriza era ayaniriza bonna abaagala okukolera awamu naye okuleeta enkyukakyuka.
 
Yannyonnyodde nti, ye akutte bendera y'abaagala enkyukakyuka kyokka tayawula mu bibiina bya bufuzi kubanga mu b'akwatidde bendera mulimu n'aba NRM abaagala okulaba Uganda ng'ekyusa obukulembeze okuva mu Pulezidenti omu okudda ku mulala era ng'akikola mu mirembe.
 
Yasinzidde mu kuziika maama w'omubaka wa Jinja East, Paul Mwiru okwabadde ku kyalo Kasenyi e Nkumba mu ggombolola y'e Katabi ku Ssande.
 
Yategeezezza nti, wadde ng'akkiririza mu kwegatta era nga buli gy'ayitira bakimugamba, kyokka tebalina budde bwa nkiiko era bo abaagala okuggya Pulezidenti Museveni mu ntebe baasimbudde dda.
 
Yayongeddeko nti, bannabyabufuzi bwe banaalemwa okwegatta, akakasa nti abantu baabulijjo n'ab'omu "Ghetto" bo bajja kwegatta kuba tebakkiririza mu njawukana za mawanga n'amaddiini ebyali bibaawula.
 
Ekisinde kya People Power yagambye nti, baasalawo obutakiwandiisa ng'ekibiina ky'ebyobufuzi si lwakuba nti tebalina bibiina byabalera naye lwakuba baakimanya nti, obwo buzannyo Museveni bw'akozesa okunyigiriza ebibiina ebirala.
 
Ebigambo bya Bobi Wine byalanze ng'oluyiira era bannabyabufuzi b'oludda oluvuganya abamu ne bamuwagira ate abalala ne bamulabula nti, olutalo lwazzeemu si lwangu kuba balubaddemu ebbanga okumusinga era nti alina okutuula nabo bakkaanye ani gwe basimbawo era buli kibiina kinaakola mulimu ki okuyisaawo gwe banaaba bakkaanyizzaako.
 
Harold Kaija, amyuka omuwandiisi wa FDC yagambye nti eby'okuvuganya ku bwapulezidenti kalinga katale buli muntu w'atundira endowooza ye abantu ne bagigula oba okugigaana.
 
"Abaagala ekifo bonna ba ddembe okujja era nze ndabawo omukisa gw'okuddamu okulonda ogwokubiri mu 2021 era ku mulundi ogwo ng'abavuganya gavumenti tujja kuwagira munaffe yenna anaaba asinzizza obululu," Kaija bwe yategeezezza.
 
Semakula Luttamaguzi (Nakaseke South) yagambye nti, ne bw'ebeera ttiimu ya mupiira nga muli bangi naye mubeerako ne munnammwe gwe mulaba asaana obwa kapiteeni mwenna gwe mulina okugoberera.
 
Mu kiseera kino agamba nti, kimanyiddwa n'ayonka nti Bobi Wine y'asinga obuwagizi mu bantu era bonna gwe balina okuwagira kuba ensi yamwaniriza dda.
 
Embeera y'okuteesa mu bisenge erimu obuzibu nti, waliwo abalowooza nti bwe kubeera kwegatta balina kwegatta ku bo, wadde nga babaddewo ekiseera era nga kati ne mu bantu tebalina buwagizi.
 
Kino kibeerawo kuba abamu bajja n'ebigendererwa eby'enjawulo ebitali bya kuwangula bwapulezidenti bwa ggwanga wabula okwenywereza webali.
 
Polof. Sabiiti Makara, omusomesa w'ebyobufuzi ku yunivasite e Makerere yagambye nti ekizibu kya bannabyabufuzi ye buli muntu okulowooza nti wa maanyi n'atandika okulowooza nti banne balina kumwegattako.
 
Yagambye nti, embeera eyo Dr. Kizza Besigye ne Amama Mbabazi gye baayitamu nga buli omu yeemanyi eryaanyi era bonna baafundikira tebawangudde.
 
Yategeezezza nti, wadde nga mu kiseera kino Kyagulanyi alabika nga ow'amaanyi, alina okukimanya nti n'ebibiina byobufuzi birina emirandira mu bantu gye yeetaaga okutambuza obulungi kakuyege we.
 
Yagambye nti bonna bandisoose kutuula ne basemba omuntu omu gwe balaba abasukkulumyeko mu buwagizi olwo bonna ne bamuwa obuwagizi.
 
Yalabudde abavuganya nti, balina okukimanya nti, olutalo lw'okuwangula Pulezidenti Museveni lwetaagisa okukolera awamu bonna kuba omuntu gwe bavuganya alina obuwagizi bw'ekibiina kya NRM, abakulembeze ba L.C, ebitongole by'okwerinda awamu n'ensimbi okubasinga.
 
Gerald Siranda, akola nga ssaabawandiisi wa DP yagambye nti bannabyabufuzi bonna ku ludda oluvuganya Pulezidenti Museveni tewali atayagala aveeko era baaniriza omuntu yenna ayinza okumusobola okumubawangulira era Kyangulanyi bw'aba alina obusobozi obumuwangula kye baagala.
 
Kyokka yagasseeko nti, ekiseera kino tewali muntu ayinza kukola yekka asobola kuwangula pulezidenti Museveni okuggyako nga wabaddewo okwegatta n'okukolera awamu obuwanguzi buyinza okubaanguyira.
 
Samuel Lubega Mukaaku (DP BLOC) yagambye nti, Kyagulanyi naye alina eddembe okwogera ekirowoozo kye kubanga y'akulembedde ekisinde kyokka bo ng'abatambula naye omulimu gwabwe gwa kumuluhhamya n'okwongera okulengera ewala ssinga wabeerawo okuwaba naye bwe kutabaawo bagenda mu maaso n'okumuwagira.
 
Yategeezezza nti, buli muntu yeetaaga munne mu lutalo olwokununula eggwanga naye kiba kizibu okuggusa olutalo olwo nga mweyawudde kuba bakimanyi nti okwegatta ge maanyi.
 
Fred Nyanzi (wa People Power) yagambye nti, ye ng'owa People Power akiraba nti ekisinde kyasimbula dda nti abantu wansi bakkiriza dda Kyagulanyi abakulembere.
Okwegatta nabo bakwagala naye abalonzi baalaga dda nti waliwo obwetaavu obw'enjawulo.
 
Bannabyabufuzi basaana balage nti nabo baagala okuggyako pulezidenti Museveni nga basalawo ku muntu alina amaanyi ag'enjawulo.
 
Abawagizi ba Bobi Wine abamu baalaze essanyu ku bye yayogedde nga bagamba nti, olumu bannabyabufuzi badda mu nkiiko ne boogera Oluzungu lungi ne bawunzika nga basazeewo ebikontana n'ekiri mu bantu.