Abanene mu kibiina kyaffe mukomye okujeemera ssemateeka- DP

BANNAKIBIINA kya DP, balabudde abanene mu kibiina kino abasusse okwegulumiza n’okwetwala nga abekitalo mu kibiina olw’ebifo by’obukulembeze bye balimu ne batuuka n’okuyisa amaaso mu ssemateeka w’ekibiina nti boolekedde okufiirwa kaadi y’ekibiina mu kalulu ka 2021.

 Ku ddyo ye Ssaabawandiisi wa Dp,Gerald Siranda ng'ayogerako eri bannamawulire ku kitebe ky'ekibiina, (mu ssuuti enzirugavu) y'akulira ebyamawulire mu DP, Kamya Kasozi

James Magala

BANNAKIBIINA kya DP, balabudde  abanene mu kibiina kino abasusse okwegulumiza n'okwetwala nga abekitalo mu kibiina olw'ebifo by'obukulembeze bye balimu ne batuuka n'okuyisa amaaso mu ssemateeka w'ekibiina nti boolekedde okufiirwa kaadi y'ekibiina mu kalulu ka 2021.

Ssaabawandiisi w'ekibiina kino, Gerald Siranda, yabadde mu lukungaana lwa bannamawulire lwe baatuuzizza ku kitebe ky'ekibiina mu Kampala n'ategeeza nga bwe waliwo abanene mu kibiina kya DP abeetwala okuba ab'amaanyi okusinga ekibiina, ye ky'agamba nti kikyamu.

 Siranda yagambye nti bayise olukiiko lw'ekibiina olw'oku ntikko enkya, okusala entotto ku ngeri bwe bayinza okumalawo okusoomoozebwa okuliwo mu kibiina, okwetegereza omukago gwa DP Block, okulaba engeri gye bayinza okukyusa obukulembeze bw'ekibiina ku mitendera egy'enjawulo n'okukubaganya ebirowoozo ku ky'abooludda oluvuganya okusimbawo omuntu omu ku bwa pulezidenti mu kalulu ka 2021.

Yagasseeko nti oluvannyuma ng'olukiiko olw'oku ntikko lumaze okutuula, baakukola enteekateeka y'okuwandiisa bannakibiina okwetooloola eggwanga lyonna.

" Buli  abeegwanyiza okwesimbawo ku kaadi ya DP oba okulonda mu kamyufu k'ekibiina kino ateekwa okuba nga yeewandiisa nga munnakibiina, ssinga aba takikoze ebya DP abyesonyiwe," bwe yagambye