Poliisi e Jinja ezzeemu okulemesa Besigye

POLIISI e Jinja ezzeemu okukwata eyaliko pulezidenti w’ekibiina kya FD, Dr. Kizza Besigye n’emuggalira ku poliisi y’e Nalufenya.

 Ku poliisi e Nalufenya Besigye ye yeefulumizza mmotoka ate banne baabatutte tebalinnya.

Bya DONALD KIIRYA

POLIISI e Jinja ezzeemu okukwata eyaliko pulezidenti w'ekibiina kya FD, Dr. Kizza Besigye n'emuggalira ku poliisi y'e Nalufenya.

Omulundi ogwasooka Besigye yakwatibwa ku lunaku lwa Mmande mu Jinja bwe yali agenze e Jinja ku bikujjuko by'okujjukira nga bwe giweze emyaka 15 bukya kibiina kya FDC kitandikibwawo.

Dr. Besigye okukwatibwa abadde agenda okwogera ku laadiyo ya Busoga One, 90.6fm gye yabadde ayitiddwa eggulo ku Lwokusatu okubeera ku pulogulaamu emanyiddwa nga ‘Empuku.

Besigye abadde akyaziddwa omukubiriza wa pulogulaamu eno ayitibwa David Agha Isabirye ng'ono kkansala akiikirira Bugembe Town Council ku lukiiko lwa disitulikiti y'e Jinja era nga ye mumyuka wa minisita w'ebyaamawulire mu Bwakyabazinga bwa Busoga.

Isabirye naye akwatiddwa bw'abadde agenze ku luguudo. Poliisi y'e Jinja yafunye amawulire nti Besigye agenda kukyazibwa ku laadiyo eyo era oluvannyuma alambuleko ekifo kalina ey'emyaliiro esatu we yabuutikira abantu abasoba mu 30.

Wabula mmotoka ya Besigye nnamba UAN 661V ebadde yaakava ku lutindo lw'omugga Kiyira ayingire Jinja, kabangali ya poliisi n'egikiika mu maaso n'eyimirira olwo ne bagiggyamu omukka mu mupiira ogw'omu maaso okugitangira okweyongerayo.

Besigye n'abantu abalala baasigadde mu mmotoka okutuusa omuduumizi wa poliisi mu Kiira bw'alagidde kasiringi ejje esike mmotoka okugitwala ku poliisi y'e Nalufenya kyokka kasiringi ereeteddwa nga nnafu.

Mu kaseera kano oluuyi lw'oluguudo olumu lwabadde lusibiddwa nga mmotoka eziva ku ludda lw'e Njeru ne Jinja nga zitambulira ku ludda lumu ng'ekifo kyetooloddwa abaserikale ba poliisi ekkakkanya obujagalalo, militale ne bambega.

Oluvannyuma poliisi yaleese ekimotoka kya UPDF ekyasise mmotoka ya Besigye ne kigitwala ku poliisi y'e Nalufenya.

Bwe baabadde ku poliisi y'e Nalufenya, Besigye ne be yabadde nabo mu mmotoka baagifulumye era waabaddewo akanyoolagano wakati wa poliisi ne Kato ddereeva wa Besigye okumuyingiza munda mu poliisi y'e Nalufenya.

Wabweru wa poliisi ye Nalufenya, abaserikale abakkakkanya obujagalalo baalabiddwa nga bagoba abantu abaabadde batandise okukuhhaana era baakutteyo abntu babiri abaabadde bagikasukira amayinja.

Ne kasiringi nnamba UAE 557Y ey'obwannannyini eyabadde ereeteddwa okusika mmotoka ya Besigye yayasiddwa endabirwamu.

Omuduumizi wa poliisi mu kitundu kya Kiira, Paul Nkore, ategeezezza nti baafunye amawulire nti Besigye yabadde agenda okukuba olukuhhaana mu kifo kalina we yabuutikirira abantu kyokka ng'ekifo ekyo kikyakuumibwa poliisi ekyagenda mu maaso n'okukola okunoonyereza.

Nkore ayongeddeko nti Besigye okugenda ku laadiyo kibadde kya kubuzaabuza poliisi naye ng'ekigendelerwa kye kibadde kya kugenda mu kifo ekizimbe we kyabuutikirira abantu.

Abamu ku baddereeva okuli Ayub Bazalaki owa Kampala Cement ne Umar Kintu baategeezezza nti poliisi yandirese Besigye ne yeeyongerayo n'akola egigye mu kifo ky'okumuzingiza wakati mu luguudo.

Ye Omwogezi wa People's Government mu Busoga, Herbert Nume, yategeezezza nti tekyabadde kya bwenkanya okukwata Kizza Besigye n'okuziba ekkubo era nti poliisi etyobodde eddembe lya Besigye ery'okwogera. Abalala abaakwatiddwa kubaddeko Kato ng'ono ddereeva wa Besigye, Ronald Muhinda nga muyambi wa Besigye, Noordin Basalirwa ne David Agha Isabirye wabula Isabirye we twagedde mu kyapa nga bamutadde.