Okulonda kwa Ssentebe wa NRM e Mityna kuzzeemu kigoye wezinge

Okulonda kwa Ssentebe wa NRM e Mityna kuzzeemu kigoye wezinge

Bya Sofi Nalule
 
Okulonda Sentebe wa NRM owa disitulikiti ye Mityana kwawuddemu abawagizi n'abamu ku babadde besunga okukwatira ekibiina bendera.
 
Wetwogerera bino nga Abraham Luzzi aludde nga yeesunga okuvuganya mu kamyufu avuganye ku kifo kyomubaka wa Palamenti owa Mityana Municipality. Luzi aludde ng'alabibwako okukuyegera mu Ssaati za NRM nokuwagira enkulakulana ezenjawulo.
 
Olwaleero akedde kutuuza lukungaana lwabamawulire mu makaage e Bamunanika nalangirira nga bwagenda okwesimbawo ku kifo kyomubaka wa Palamenti owa Municipality ye Mityana ku bwanamunigina(independent).

Yagambye nti wadde aludde ngalabibwaako okwagaliza ekibiina naye okulonda Sentebe wa NRM tekamunyumidde kwamulese yemulugunya nafuna okutya nti akamyufu kayagala kaadi yandimuyita mu ngalo.

 
Okulonda Sentebe wa NRM owa disitulikiti ye Mityana kwakulembeddwa Dr.Tanga Odoi akulira ebyokulonda mu NRM nga yeyalangiridde John Kintu ku buwanguzi oluvanyuma lwokubala obululu.
 
Luzi akakkasizza aba NRM nti wadde asazeewo ajje bwanamunigina ekibiina takivuddemu mwetegefu okuweereza abantu bonna.