Minisita Harunah Kasolo agabye pikipiki ez'okweggya mu bwavu

Minisita Harunah Kasolo agabye pikipiki ez'okweggya mu bwavu

MINISITA wa Micro Finance Haruna Kyeyune Kasolo addukiridde abavuzi ba Bodaboda ku siteegi ez'enjawulo  mu ssaza lye Kyotera bw'abawadde Pikipiki 25 okusobola okuzivugisa Bodaboda basobole okweggya  mu bwavu n'okuwona okukozesebwa nga bavuga Pikipiki ezitali zaabwe.
 inisita arunah asolo ngayogerako nabavubuka abaweereddwa boda boda Minisita Harunah Kasolo ng'ayogerako n'abavubuka abaweereddwa boda boda

 

 
Minisita Kasolo yazibawadde ayita mu kitongole kye ekya Kasolo Foundation ngaba Bodaboda bano baazifunidde ku looni yansimbi zennyini zezigula ewatali kussaamu magoba gonna era bano bazze beegattira mu bibiina eby'enjawulo nga batereka n'ekitongole kya Kasolo Foundation Sacco.
 
Omukolo gw'abadde mu kibuga Kalisizo mu Kyotera nga gwetabiddwaao abantu bangi abatendereza Kasolo okubeera omukulembeze ayagaliza abantu be enkulaakulana.