Halima Nakaayi ne Winnie Nannyondo ekirwade kibalemesezza olugendo lwe China

Halima Nakaayi ne Winnie Nannyondo ekirwade kibalemesezza olugendo lwe China

Emunyenye za Uganda mu misinde gy'ensi yonna Halima Nakaayi ne Winnie Nanyondo basazizzaamu olugendo olwe China okwetaba mu mpaka za World Indoors ezibadde ez'okuberaawo nga February 14 mu kibuga Nijing.

Okusazaamu olugendo luno kivudde ku kirwadde ekiri mu kutta bantu e China nga mu kiseera kino kitandise okusasaana amawanga amalala.

Nakaayi yakakasizza ensonga eno n'agamba nti ne kibiina ekifuga emisinde mu ggwanga, Uganda Athletics Federation nakyo nga bwe kyafunye okulabulwa kwe kirwadde kino era ne kisazaamu empaka zino okutuusa omwaka ogujja.

Nakaayi yawangulira Uganda omudaali ogwa zzaabu mu mita 800 mu mpaka z'ensi yonna, World Athletics Championships omwaka oguwedde era n'abeera Munnyauganda asookedde ddala okutuuka ku mutendera guno mu mita 800. Ate Winnie Nanyondo yamalira mu kifo kya kuna mu mpaka ze zimu