Akwana abawala n'ababba poliisi emuggalidde

POLIISI ekutte omusajja agenda mu bbaala n’ebifo ebirala ebisanyukirwamu n’akwana abawala n’ababbako ebintu byabwe.

 Muyimba eyakwatiddwa

Joseph Muyimba, omutuuze w'e Bulenga, poliisi erudde ng'emunoonya oluvannyuma lw'abamu ku bawala be yabba okumulonkoma ku poliisi.

Amyuka omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Polly Namaye yagambye nti Muyimba abadde agenda mu bbaala n'ebifo e Kololo n'akwana abawala oluvannyuma n'abateeka mu mmotoka ye ng'abalimbye nti abatwala wuwe okwesanyusaamu kyokka n'abeefuulira n'ababba.

"Twafuna okwemulugunya okuva mu bawala ab'enjawulo nga bwe waliwo omusajja abakwanira mu bbaala oluvannyuma n'ababba era abaserikale baffe ne batandika omuyiggo okutuusa lwe bamukutte nga kati ali mu kunoonyerezebwako." Namaye bwe yagambye.

Yagambye nti okukwata Muyimba kyaddiridde omu ku bawala be yabba okumulaba mu bbaala emu e Kololo n'addukira ku poliisi y'e Kololo ku kisaawe n'atemya ku baserikale abaagenze ne bamukwata n'emmotoka mw'abadde atambulira nnamba UBD 202U.

Namaye yagambye nti abamu ku bawala abadde ababbira mu loogi gy'abatwala ate abamu n'ababbira mu Mabira oluvannyuma lw'okubalimba nti abatwala Jinja wabula bwe batuuka mu lugendo n'abeefuulira nga n'abamu abaleka bali bwereere kuba engoye zaabwe azitwala. Emisango egisinga abawala baagiggulawo ku poliisi e Mukono.

Mu kwaza emmotoka ye, abaserikale baasanzeemu ebintu eby'enjawulo ng'ebisinga bya bakazi omuli ensawo, engato, lipstick, gaalubindi n'essimu 4 wabula nga teziriimu kkaadi. Muyimba yatwaliddwa ku poliisi y'e Mukono ng'avunaanibwa ku ffayiro SD 64/27/01/2020.