Munnayuganda afiiridde e China

ENFA y’omuyizi Munnayuganda abadde anaatera okutikkirwa mu yunivasite e China etabudde aba ffamire ye ne balumiriza nti, omwana waabwe basse mutte.

 Mbogo eyafiiridde e China

ENFA y'omuyizi Munnayuganda abadde anaatera okutikkirwa mu yunivasite e China etabudde aba ffamire ye ne balumiriza nti, omwana waabwe basse mutte.

Shafiq Mbogo 22 yasangiddwa wabweru w'ekisulo w'abadde asula ng'afudde ku Lwakuna emisana ku ssaawa nga 8:00 mu kibuga Shenyang e China.

Mbogo yagenda e China mu 2016 ku Shenyang University gy'abadde asoma diguli mu by'ensuubulaga y'amawanga. Nnyina Dorothy Wagalinda abeera e Bungereza yagambye nti, alina okukkiriza kwa maanyi nti mutabani we yattiddwa.

Mbogo, kkamera z'ekisulo kw'abadde asula zaakomye okumukwata ng'ava ku mwaliiro ogwokuna ng'adda ku mwaliiro ogwokutaano, ebyaddiridde tewali kkamera yonna yabikutte.

Wagalinda eyabadde omunakuwavu ennyo ku ssimu ng'ayogera yagambye nti, buli mulyango gw'ekisulo kino, guliko kkamera naye tewali kkamera ndala yonna yakutte byabaddewo. Yagambye nti, omwaliro ogwokutaano ku kisulo kino, buli muyizi akkirizibwa okwetayizaako nga bw'ayagala wadde kuliko omuvubuka omu asulako.

Yagasseeko nti, Mbogo bwe yatuuse ku mwaliiro guno, yayingidde munda era omuvubuka asulako yabaddemu munda nga yeebase era kiteeberezebwa nti, omuvubuka ono yandiba nga ye yasindise Mbogo wansi ng'amuyisa mu ddirisa.

Yayongeddeko nti, abayizi ababadde basula ne mutabani we baamugambye nti, batuuse ku munnaabwe wansi we yabadde agudde naye nga kirabika yasoose kuttibwa n'alyoka akasukibwa wansi.

"Mbadde njogera ne mutabani wange buli lunaku, yandibadde angamba singa abadde n'obuzibu bwonna, abadde mukwano gwange ffa nfe, abasaasaanya amawulire nti yesse balabika balina kye bagezaako kubikkirira, talina nsonga yonna ebadde eyinza kumwettisa," Wagalinda bwe yategeezezza.

E China, Mbogo yatuukira w'ewoluganda lwe eyategeerekeseeko erya Hajara era ono, okusinziira ku Wagalinda, Mbogo abadde amweyabiza mu buli nsonga wabula naye talina kye yamutegeezaako nti oba alina obuzibu bwonna.

Omuwandiisi asooka ow'ekitebe kya Uganda e China, Philip Kanyoonzi yafulumizza ekiwandiiko n'ategeeza nti, poliisi yabadde esambazze eby'okuttibwa kwa Mbogo nti kyokka okunoonyereza kwabadde kukyagenda mu maaso era oluvannyuma, lipooti enzijuvu yabadde yaakukolebwa.

Yagasseeko nti, amawulire ge baabadde baakafuna gaabadde galaga nti, Mbogo yawanuse ku lubalaza lw'ekisulo kw'abadde asula era baabadde boogedde n'abakulira yunivasite n'ekitongole ekitwala ebyokwerinda n'okunoonyereza ne bakakasa okufa kwa Mbogo nti kyokka eky'okuba nga baamusse kyMunnayuganda

Sitetimenti ya Kanyoonzi yatabudde aba ffamire ya Mbogo era Wagalinda yagambye nti, Kanyoonzi yamukubidde essimu ne boogera wabula tamanyi nsonga lwaki yafulumizza sitatimenti nga tamaze kufuna lipooti ya poliisi.