Omuyimbi Jovan Luzinda alangidde Grace Khan obulogo

Abayimbi ba Da Nu Eagles, bbandi ya Geoffrey Lutaaya batabuse. Jovan Luzinda alangidde Grace Khan okumugendera ku musawo asibe olubuto lwa mukyala we omukulu.

 Grace Khan (ku kkono) ng’aliisa Kitonsa kkeeki ku kabaga akamu gye buvuddeko. Mu katono ye Jovan Luzinda

Mukwano gwa Grace Khan amanyiddwa nga Essie alumirizza omuyimbi oyo okumukulembera ewa Seeka Umar Kamoga okukola ku by'okusibira olubuto ku mukyala wa Luzinda.

Seeka Umar Kamoga agamba nti ku kusiba olubuto, Grace yagattako okumusaba azzeewo omukwano gwabwe ne Jovan kubanga yali (Jovan) takyamulaga (Grace Khan) bulungi mukwano ng'obudde abuwa nnyo mukyala we omuzito.

OKWO KUNNYONOONA - GRACE KHAN

Eby'okumulumiriza obulogo, Grace Khan yabyogeddeko ng'ebyokumwonoonera erinnya nti kubanga ye n'ewa Seeka Umar tamanyiiyo.

Yabasabye baleete obujulizi. Yagambye nti wadde nga yalina enkolagana ne Jovan, talina kya bulogo kyonna kye yali akoze: "Ndayira Katonda okutta jjajjange kubanga mwagala nnyo, sigendangako ku musawo yenna."

Yagasseeko nti, "abo bwe bagenda mu maaso n'okumpaayiriza hhenda kubaggulako emisango." "Nawulira dda ebintu by'obulogo mu bayimbi.

Nze ndi muyimbi muto mu myaka ne mu kisaawe kati okunnyingiza mu by'okuloga baagala kunzitira katale. Nkyalina emikisa gy'okufumbirwa n'okuyimba ne mbeera omuntu ow'amaanyi.

Kati nga lwaki ndoga omuntu?" Bw'atyo Grace eyasangiddwa e Mengo bwe yategeezezza Bukedde ku Lwokusatu. Kyokka yaggumizza nti akyayagala Kitonsa. Kyokka ne Essie yalayidde nti by'alumiriza Grace Khan bituufu.

"Katonda okunzigyako ebyange byonna, Grace yagenda ewa Seeka."

Obuzibu buva wa ?

Seeka Umar ne Kkojja Kitonsa baamukwano. Kitonsa ye muninkini wa Grace Khan eyamupasula ku Jovan. Kitonsa yasooka kubeera maneja we, ekyaddirira ne baagalana.

Kitonsa nga tannaganza Grace Khan, yalina omukyala ‘ssenga Namatovu kyokka ne bafunamu obutakkaanya nga Kitonsa aganzizza Grace Khan.

Wabula omwaka oguwedde, Namatovu yazaalidde Kitonsa ne bakola n'omukolo gwa ‘akiika'.

Seeka Umar yategeezezza Bukedde nti ku mukolo ogwo (ogwa akiika), maama wa Kitonsa yeegayirira mutabani we akyawe Grace Khan n'atuuka n'okutiisatiisa okumuzaalukuka bw'atakikola.

Kino maama yakikola lwa kusaba kwa Namatovu eyali akoze byonna okukyawaganya Kitonsa ne Grace n'alemwa, ensonga kwe kuzitwala ewa nnyazaala we.

Noolwekyo tekyewuunyisa Seeka Umar bw'aba nga yavuddeyo n'ayasa ebyama bya Grace Khan eby'okugenda ewuwe asibire olubuto ku mukyala wa Luzinda.

Kitonsa by'ayogera Kitonsa agamba nti ekyamutabula ne Grace Khan kwogeranga nnyo mu mawulire ebibakwatako ng'ate ye obulamu bwe abwagala tebumanyiddwa nnyo mu bantu balala. Jovan Luzinda ye yayimba ‘Omuwala embooseera' ate Grace Khan n'ayimba ‘Simanyi'.