Sheebah atongozza bizinensi y'okukola ppaadi

Sheebah Karungi akubirizza bayimbi banne okwetandikirawo emirimu emirala okwekulaakulanya n’okutegekera obulamu bwabwe obw’omu maaso.

 okuva ku kkono; Harima Namakula

Omuyimbi Sheebah Karungi asoomoozezza bayimbi banne okweyambisa ebitone byabwe okwekulaakulanya n'okutegekera obulamu bwabwe obw'omu maaso.

Abawadde amagezi obutamala gajaajamya ssente ze baba bafunye kubanga okuyimba kulinga sizoni si mulimu gwa buli lunaku. Yabakubirizza okufaayo okwetandikirawo emirimu emirala bakomye okusabiriza.

okuva ku kkono est emigisha heebah nn ansimeokuva ku kkono; Best Kemigisha, Sheebah, Ann Kansime

Okwogera bino yabadde ku Pearl Of Africa Hotel ku mukolo kwe yatongolezza bizinensi ye empya ey'okukola ppaadi ze yatuumye ‘Holic pads' wansi wa kkampuni ye eya Sheebah Establishment.

 "Mukama abadde mulungi gyendi, mu myaka 10 gye mazze nga ndi muyimbi ow'erinnya nfunye obuwagizi obwamaanyi era abantu bampadde ssente kwe kusalawo okubaako bizinensi endala gye ntadikawo okwetegekera obulamu bwange obw'omu maaso.

 kuva ku kkono meria ambala abako ne minisita iwanda Okuva ku kkono; Ameria Nambala, Kabako ne minisita Kiwanda

Busobola okukya ku makya nga sikyasobola kuyimba oba nga nfunye obuvune nga ssente nnina kuzifuna walala so si ku siteegi," bwe yayongeddeko.

Yagambye nti kimutwalidde emyaka etaano okuteekateeka bizinensi eno okulaba nti ppaadi z'akola zituuse ku mutendera ogukkirizibwa okugenda ku katale. Yategeezezza nti ataddemu ssente nnyingi nnyo wabula alina essuubi nti bizinensi eno egenda kwongera okumugaggawaza. Wano we yasinzidde okugamba nti teyejjusa mbeera mbi ey'obwavu gye yakuliramu kubanga kati mugagga.

okuva ku kkono agie igozi arimah amakula ne arbieokuva ku kkono; Magie Kigozi, Harimah Namakula ne Barbie

Omukolo gwetabiddwaako abantu bangi okwabadde; Nnamasole w'Obukama bw'e Toro,Best Kemigisha, Minisita Godfrey Suubi Kiwanda, abayimbi ne bannakatemba abaakulembeddwa  Halima Namakula, Barbie Kyagulanyi mukyala w'omubaka Robert Kyagulanyi (Bobi Wine) n'abalala. Baasiimye Sheebah olw'omulimu guno omulungi ne bakubiriza abayimbi okumutwala