Trump atabuse lwa China kukweka by'ezudde ku Corona

Trump atabuse lwa China kukweka by’ezudde ku Corona

 Bapulezidenti, XI Jinping (ku kkono) owa China ne Donald Trump owa Amerika.

CHINA yeekangabirizza ku nsi yonna n'eragira abakugu baayo abali mu kunoonyereza ku nsibuko ya Corona okukomya bunnambiro okufulumya bye batuuseeko okubigabana ne Amerika oba omuntu omulala yenna.

Ekiragiro kino gavumenti ya China yakifulumizza ku nkomerero ya wiiki ewedde era abakugu mu yunivaasite bbiri ababadde bateeka ku mikutu gya yintanenti bye batuuseeko ku kunoonyereza kuno ne babalagira babiggyeyo mbagirawo. Kiddiridde amawanga agakulemberwa Amerika okulumiriza China okuvaako Coronavirus ate n'egattako okuwa amawulire ag'obulimba ku bulwadde, abalwadde, abafudde, abawonye n'engeri gy'ejjanjabamu.

Ebiragiro ebipya China biragira nti buli kiwandiiko ekikwata ku kunoonyereza ku Corona balina kusooka kukiwaayo mu gavumenti n'ebiyitamu n'esalawo kiki kye balina okufulumya.

Abakugu bategeezezza nti China ky'ekola kigendereddwa kulemesa kaweefube abaddewo mu kunoonyereza ku nsibuko y'ekirwadde kino nga batandikira mu kitundu we kyasibuka (mu China mu kibuga Wuhan mu December w'omwaka oguwedde). 

AMERIKA ERIDDE OBUWUKA Ebiragiro China bye yawaddeAmerika yabiwakanyizza nga Pulezidenti Trump agamba nti okunoonyereza okukolebwa, Amerika yakuteekamu ssente obukadde bwa doola kyenkana 40. Ekireese embeera eno kwe kubeera nti ebiwandiiko ebikwata ku kunoonyereza bye bazze bafulumya okuva mu January, biteeka gavumenti ya China mu matigga ng'ebibuuzo bingi by'erina okwanukula ku nsibuko y'ekirwadde kino n'engeri gye kyatandika okusaasaanyizibwa okuva ku muntu omu okudda ku mulala.

Ebiragiro China bye yafulumizza ng'eyita mu minisitule y'ebyenjigiriza, ssaayansi ne tekinologiya, buli kiwandiiko okufulumizibwa balina okusooka okukyekenneenya ennyo nga tebannaba kukifulumya buli muntu kukisoma. Kirina kusooka mu kakiiko k'ebyensoma ku yunivasite, bakiweereze mu minisitule, olwo kigende mu kakiiko akakolera wansi wa ‘State Council' kasalewo ekisembayo. Ekiwandiiko ekirimu enteekateeka eno kyasoose kufulumira ku mukutu gwa Fudan University mu kibuga Shanghai era waayise akaseera katono omukutu gwa yunivasite ne baguggya ku yintanenti.

AMERIKA BAWEZE EMITWALO 56 Eggulo, Amerika yokka yawezezza abalwadde 560,433, abafudde 22,115 n'abassuuse 32,634. Okwetooloola ensi yonna abalwadde baweze 1,862,028, abafudde bali 114,291 n'abassuuse 431,613. Bagavana mu masaza ag'enjawulo mu Amerika babadde Bapulezidenti, XI Jinping (ku kkono) owa China ne Donald Trump owa Amerika.

OMWANA Erin Bates baamuzaala n'ekituli ku mutima ne bamulongoosa era n'emimiro egirina okutambuza omukka gyaliko obuzibu ne bagirongoosa. Abadde yaakatereera ate ku Lwokutaano lwa wiiki ewedde ne balangirira nti yakwatiddwa corona! Ekifaananyi ky'omwana ono baakifulumizzza ku mukutu gwa Dailymail ng'ali ku byuma bimubisse yenna amaaso. Ekiseera kino omwana asobola kubeerako ne nnyina Emma Bates 29, yekka mu ddwaaliro e Liverpool kuba kitaawe Wayne, 32 yabadde alina okudda eka yeeyawule ku bantu abalala.

EBBUJJE LIPOOCA beemulugunya nti ebyuma ebikebera obulwadde bwa Corona gavumenti bw'ebawa tebukebera bulungi, Trump n'alagira bagavana bonna mu buli ssaza bafune ebyuma eby'omulembe.

AKATTU E BUNGEREZA

Amawanga ga Bulaaya nga Bungereza baayingidde wiiki eyookuna nga tebakkirizibwa kuva waka nga bwe balinda olutuula lwa Baminisita olutasukka lwaleero okubabuulira ekiddako.

Abakola ogw'okuziika e Bungereza beekubidde enduulu nga bategeeza nti obulamu bwabwe buli mu matigga kubanga ebisawo amalwaliro mwe gabadde gasabika abafudde corona byaweddeyo kati babazinga mu masuuka ekintu eky'obulabe.

Ku muliraano e Kenya, eggulo yawezezza abalwadde 197 n'abafudde 8. Rwanda abalwadde 126 nga tewali afudde yo e Tanzania abalwadde 46 abafudde 3, era yo bannansi babadde bakyetaaya.