KIGONGOKabaka awadde 5 amayinja okubasiimaAbakolera

KIGONGOKabaka awadde 5 amayinja okubasiimaAbakolera

KABAKA Ronald Muwenda Mutebi II asiimye emirimu gy'abasajja be bana n'omuzaana mu buweereza bwabwe mu bulamu eri Obwakabaka n'ensi yonna okutwalira awamu.

Abawadde amayinja ag'oku ntikko babeere eky'okulabirako eri abantu abalala. Kino kye kitiibwa ekyokubiri okuva ku ntikko, ng'ekisooka kya Mafumu n'eEngabo.

Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga ye yalangiridde abantu bano e Bulange- Mmengo nga kuliko Dr. Paul Ssemwogerere, Sheikh Rajab Kakooza, Rev. Can. Samuel Kasujja, John Johns Yaakuze ne Polof. Josephine Nambooze Kiggundu. "Nga bweri enkola ya Kabaka ng'akuza amazaalibwa ge, asiimye n'awa ejjinja ly'omuwendo eri abantu ababeera basukkulumye mu buweereza mu mirimu gyabwe, Obwakabaka n'ensi okutwalira awamu.

Bano b'asiimye embeera bw'eneetereera waakutegekebwawo omukolo okubakwasa amayinja gano," Mayiga bwe yagambye. Dr. Paul Kawanga Ssemogerere: Kabaka amwebazizza olw'okubeera munnabyabufuzi era omukulembeze omukuukuutivu atasuulanga buntubulamu.

Y'omu ku baalwanirira ameefuga ga Uganda ng'akyali muvubuka, yalwanirira okwenunula kwa Uganda mu myaka gye 1970, yakulembera ekibiina kya DP okumala ebbanga ddene, yaweereza mu gavumenti eyawakati okumala emyaka mingi ate mu 1993 ye yali ssentebe ow'oku ntikko ow'emikolo gyonna ku matikkira ga Kabaka.

Sheikh Hussein Rajab Kakooza: Ono Kabaka amwebaza olw'obukulembeze bwe mu Busiraamu obwalafuubana ennyo okugatta abagoberezi n'okulaba ng'Abasiraamu n'abenzikiriza endala nga batambulira wamu. Rev. Can. Samuel Kasujja: Ono ye mwawule eyabatiza Kabaka mu ssaza ly'e Gomba, afuddeyo nnyo ku nsonga z'omwoyo ezikwata ku Ssaabasajja Kabaka ate n'aboolulyo Olulangira.

Obuweereza bwe bufuddeyo ku kwagala abantu ate n'okunyweza Nnamulondo. John Johns Yaakuze; Ono munnamawulire omwesimbu eyanywerera ebbanga lyonna ku nsonga za Buganda era atagiggyaako mutima gwe.

Ono yasigala ekimanyi nti Obwakabaka bwali weebuli wadde amateeka gaali gabuweze ate era yakola obutaweera okulaba ng'ekitiibwa kya Nnamulondo kiddaawo. Polof. Josephine Nambooze Kiggundu;- Ono ye mukyala omusawo ali ku ddaala erya dokita eyasookera ddala mu Uganda n'obuvanjuba bwa Afirika. Ssaabasajja yamusiimye olw'okukola omulimu gw'obusawo n'amaanyi ge gonna, n'amagezi ge gonna n'okwagala kwe kwonna era nga yatendeka abasawo bangi mu Uganda n'obuvanjuba bw'amawanga ga Afirika.

Polof. Nambooze yaliko minisita w'ebyobulamu mu gavumenti ya Kabaka, omubaka w'olukiiko era y'omu ku bantu abaasookera ddala okuweereza Obwakabaka nga bannakyewa ng'Obwakabaka bwakaddawo.

Mayiga yagenze mu maaso n'okukubiriza abantu okujaguza amazaalibwa ga Kabaka mu mbeera esoboka okuli okwekubisa ebifaananyi mu mijoozi gy'emisinde babiteeke ku mutimbagano.

"Okuzza Buganda ku ntikko tulina kuba balamu. Buli eyaguze omujoozi mmusaba agende mu maaso n'okwekubya ebifaananyi mubiteeke ku mutimbagano.

Bwe munaakola kino tunaaba tutadde Kabaka waffe mu mmeeme zaffe nga tusaba Katonda amuwangaaze ate tunaaba twetabye mu kaweefube w'okulwanyisa obulwadde bwa mukenenya," Mayiga bwe yategeezezza.