Bano babayita ba 'Sijja kuva Kampala ng'aanye'

Bano tubayite bamputtu oba bunyoomi? Ekibuga baakigobamu abantu naye bakeera ne basiiba nga beebase ku mbalaza

Wadde nga KCCA ne Poliisi bbabade basiiba mu bikwekweto by'okukwata abo abatalina bye bakola mu kibuga, naye bannakibuga abasinga bakyalumba wadde nga tebalina bye bakolayo.

Kamera zaffe zaatalaze enguudo za Kampala ez'enjawulo ng'eno gye zaagudde ku baloodi bano abaafuula emiryango gy'amaduuka ga bannaabwe ebitanda.

Anti basiiba beebase mu kibuga bwe buwungeera ne baddayo ewaka okwebaka. Kamera zaffe era zaagudde ku mukuumi eyabadde yeebase n'emmundu ye nga eby'oku nsi aloota biroote.