Ekisenge ky'ekikomera kigwiiridde enju

FFAMIRE ya bantu mwenda yasimattuse okufiira mu nju mwe baabadde beebase ekisenge ky’ekikomera kya kalina ebaliraanye bwe kyabumbulukuse ne kigigwiira.

 Ekikomera ekyaggudde

Bino byabadde Namasuba mu Zooni ya Kakajjo. Omutuuze Juma Kitaka ye yasimattuse akabenje kano ne famire ye.

Ekisenge okugwa kyavudde ku kutendewalira kw'ettaka olw'enkuba ezze etonnya okumala wiiki nnamba.

Kitaka yagambye nti baasoose kulowooza nti osanga ennyumba yabadde ekubiddwa bbomu olw'omusinde okuva ku kisenge nga kigwa.

"Twebaza Katonda kuba tewali muntu yenna yatuusiddwàako bisago mu njega eno wadde ng'ebintu byaffe byayonoonese," Kitaka bwe yagambye.

Yagambye baabadde bakyayogeraganya ne nnannyini kikomera eyategerekeseko erya Abdu lyokka okulaba engeri gye bagenda okugonjoola obuzibu buno awatali kusika muguwa.

Ssentebe w'ekyalo, Haji Hussein Mawanda n'omutongole wa Kabaka ow'ekitundu, Robert Sempijja baategeezezza nti ekirungi enjuyi zombi zaatuuse ku kukkaanya.