Omuwala eyalabikira mu vidiyo ya Haruna Mubiru ne Julie Mutesaasira afiiridde mu lutalo lw'okuzaala

OMUWALA eyalabikira mu lutambi lw’oluyimba lwa Haruna Mubiru olwa 'First Class' n'olwa Julie Mutesaasira olwa 'Teyakutonderwa' afiiridde mu lutalo lw’okuzaala

Esther Kayaga 27 mukyala w'omuyimbi wa kadongo kamu Joseph Kikomeko eyakuyimbira 'Mbwa ya matyansi Butyampa'  ye yafiiridde mu lutalo lw'okuzaala .

Kayaga abadde amannyikiddwa nnyo nga yalabikira mu luyimba lwa Haruna Mubiru olwa First Class, n'alabikira mu luyimbwa lwa Julie Mutesasira oluyitibwa nga TEYAKUTONDEBWA .

Kikomeko yategeezezza nti babadde babeera Masajja ne mukyala ng'olubuto lwatandise okumuluma ku Lwokubiri n'agenda mu ddwaliro e Masajja gy'abadde anywera eddagala ng'eno yazadde bulungi wabula omwana teyakaabye  ng'omukyala naye yamukubiddeko n'amukulisa omwana.

Kayaga n'omu ba baana b'alese

Yagasseeko nti ku ssaawa 12 ez'akawungeezi baamukubidde  ng'omukyala avaamu omusaayi mungi  yabalagidde bamutwale mu ddwaliro e Mengo gye baamuteredde ku byuma ebiyambako okussa ng'eno gye yafiiridde.

Kikomeko yategeezezza nti baali baakwanjula mu April  w'omwaka guno ekirwadde we kyajjira ne babiyimirizza nga kati babadde balinda embeera etereere.

Noor Namwanje 44  omutuuze w'omu Dobi zooni ku Kaleerwe yategeezezza nti Kikomeko  yamubbako muwala  we okumala emyaka esatu nga tamulabako yeekanze bamuleetedde Mulambo , yagasseko nti abaana  b'omugenzi  okuli n'omuwere ye yabasigazza naye talina yadde ky'abaliisa.

Omugenzi  yaziikiddwa ku kyalo Namalere - Kawanda  mu disitulikiti y'e Wakiso nga yalese abaana bana .

Maama wa Kkayaga ng'akaaba